Banna Yuganda bankuba kyeyo beeyiye mu ddwaaliro ly’e Amsterdam mu Netherland okulambula ku mubaka Muhammed Ssegiriinya kyokka buli amulabako avaayo ng’amanyi gamuweddemu olw’embeera gyalimu.
Ekimu ku bisinze okutiisa abamulambuddeko ye langi ye okukyuka ng’ebitundu bye ebimu bipeeruuse ate birala ne biddugala ate ebitundu ebirala ne biba ng’ebivaamu evvu era basabye buli muntu okussa Ssegirinya mu ssaala.
Mu baagenze okumulabako kwabaddeko Omwami wa Kabaka akulira Abaganda abali mu Netherlands Owek. Sam Ssekajugo nga yagenze ne mukyala we Julie Ssekajugo amanyiddwa nga Julie Angume. Abalala abaagenze kwabaddeko Muzeeyi Mulindwa Gavamukulya n’abalala.
Ssegirinya ajjanjabirwa mu ddwaaliro lya Gavumenti erya AMC Hospital Amsterdam era ng’okusinziira ku Ssekajugo lino lye ddwaaliro erisinga obunene mu Netherlands. Eno yatwaliddwayo okwongera okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw’eddwaaliro lya Hagen-Ambrock e Germany gye yasookera okulemererwa okumuwa obujanjabi obwetaagisa.
Ssekajugo bwe yagambye nti Ssegirinya baamulabyeko naye embeera gyalimu ekyali nnafu ddala. Afuna obuzibu mu kussa era ekiseera kituuka n’asiriikirira okumala akabanga ate oluvannyuma n’akkakkana nnyo.