Ennaku zino kizibu okubala amaka 10 nga tosanze balina mulwadde wa puleesa oba sukaali oba byombi.
Ggwe alina emu ku ndwadde zino oba byombi weekwate ebikoola by’ekitaffeeri n’ekibala okubikkakkanya.
Sarah Nakayiza, amaze ne sukaali emyaka egisoba mu 20, agamba nti, ebikoola by’ekitaffeeri bimuyambye okukkakkanya sukaali. Anoga ebikoola n’abikkaza bulungi munda mu nju kuba bw’obissa mu musana gubimalamu ekiriisa, oluvannyuma n’akolamu ensaano gy’anywera ku caayi buli lunaku emirundi egitakka wansi wa ebiri.
Agamba nti, ensaano ekoleddwa mu bikoola by’ekitaffeeri eyamba okutereeza obungi bwa sukaali n’atalinnya oba okukka ekimuyambye okuwangaala ng’alina amaanyi, teyeekuba mpiso, wadde okufuna okusoomoozebwa okulala.
Ku balina puleesa, ensaano eno okukendeeza ku misinde entunnunsi kwe zikubira n’okuziziyiza okukendeera ennyo.
Ekitaffeeri era osobola okukirya nga ekibala n’onuunamu amazzi oba okukikamulamu omubisi n’ogunywerawo kubanga omubisi gwakyo guyamba okukkakkanya sukaali. Ebirala ebikkakkanya sukaali ne puleesa mulimu, enkomamawanga eno olyamu busigo, ensaano y’ebinzaali ebiganda, engabo ya kabaka ng’eno oggyako amaggwa n’ekikuta eky’oku ngulu ekisigaddewo n’okamulamu omubisi n’onywa.