EMISANGO gy’okulagajjalira abaana 4,730 gye gyaloopebwa mu mwaka oguwedde, bw’ogeraageraanya n’egyo 6,505 egyaloopwa mu mwaka 2022 nga wano waaliwo okukendeera kwa 27.3 ku buli kikumi.
Kino kitegeezezza nti bazadde baabwe, baalemwa okubalabirira mu by’okulya, okusula, okusoma, okwambala, n’okubakuza obulungi, ekyabakosa mu kukula kwabwe.
Obulagajjavu buno, bwasinga kubeera mu kitundu kya North Kyoga ng’eno yaddirirwa Albertine ne East Kyoga. District ya poliisi eya Lira East Division, yasinga endala zonna okufuna emisango gino.
Bbo abaana abaasuulibwa , emisango gyali 1,918 so ng’ate mu 2022 gyaali 2,126 nga mu kitundu kya North Kyoga we waali omuwendo omunene, nga gyali 255.
Okutulugunya abaana, emisango gyali 866 mu 2023 ate nga mu 2022 emisango gyali 1,240. Kino kiraga nga waaliwo okukendeera kwa bitundu 30 ku buli kikumi.
Okutulugunya okwasinga kwali mu North Kyoga era nga yaddirirwa Albertine olwo Savana n’ekwata eky’okusatu.
Akulira eby’obufuzi mu poliisi Hadijah Namutebi, yagambye nti bakyagenda mu maaso n’okumanyisa abantu okwewala okulinnyirira eddembe ly’abaana.
Emisango gy’okulagajjalira abaana gikendedde – Poliisi
By
Posted on