Emiwendo gy’ebintu egyekanamye ensangi zino buli muntu agirojja bubwe, bangi baffiriddwa emirimu eby’okukola babivako dda olwemiwenda kwebali basubulira okulinya nga ate abalala ba kasitoma tebakyabalaba bwebatyo basalawo okubidduka.
Ssekanolya alondodde ensonga, Nnamwandu Nanyonjo Mariam omuzadde awa abaana 4 nga mutuze mu mukono alombojja ennaku gyayita okusoobola okulabirira abaana be 4 bba beyamulekera nga yakusooza kwerere, Nanyono agamaba yali musubuzi wa Ggonja okuva mu ggwanga lya Demokulatiki lipabuliki ya kkongo okumutusa kuno wabula okupaluka kwa bbeyi y’ebintu kyamugoba mu mulimu nga talina gakolerera bussa.
Ategezeza ” twasubulanga emitwalo 12 esawo ya ggonja nebagitunda emitwalo 15 oba 16 wabula oluvanyuma lwokupaluka kwabbeyi y’amafuta kino kyasigala tekikyasooboka nalina okudduka mu ggonja kyokka nga nnina okulabirira abbana bange n’okubasomesa’ bwatyo nanonjo bweyategezza.
Oluvanyuma lwabino okugana yasalawo okutandiika okwoza engeye mu kyalo ng’ alina engoye ez’okwoza gw’ ayoleza okufuna eky’okulya ky’abaana, ono agamba nti osanga akasente kandimumazze naye bbeyi ya sukali , sabuni na’mafuta okulinya takyalina kyasoobola negyayoza engoye avayo bamubanja nga nesukali abakulu bamuvako banywa mujjajja sukali wa muto.
Ono awanjagidde abakulembera egggwanga lino okulowooza ku bbeyi y’emiwendo gy’ebintu egyekanamye naddala amafuta .
Mumbera yemu Denis Lugya omutuze w’e mukono mateneti village [ mu kamwanyi] bwakutootolera embera gyayitamu okujjanjjaba mukadewe mu kaseera kano akwekanama kw’emiwendo gyebintu tolema kuwunikirira.
Ono tumusanze mu kamwanyi wakati mukibuga mukono wajjanjjabira omukadde Tereza Naboosa wabula mukuwayamu naye ategezeza nga bwayita mukusomozebwa okujjanjaba omukadde bwategezeza nti obujjanjjabi obusokerwako bwebetaga ye sabuni olw’ obwetavu bwokwoza buli kadde , sukali , eddagala , amata n’emmere wabula nga byonna byabusanga.
Lugya eyali omukozi mu katale ka kame valley makert akasangibwa e mukono mukikko ategezeza ng’ebyokukola bweyabivako okusobola okujjanjjaba omukadde Tereza gwatayinza kulekawo yekka.
Enkula y’ omutwe nga bwegaba essanirir Lugya omuddala yagulekera munywanyiwe amanyiddwa nga JOSE yaguddukanya okusobolaokuba okufuna ekikopo ky’ amata n’akammere okutambuza obulamu. lugya awanjagidde abazirakisa okubaddukirira mumbera eno
Mumbera yemu omukwanaganya w’ abasubuzi mu kibuga mukono Isma kaye owa Isma and sonz ono nga musubuzi mukibangirizi kyabanamakolero ategezeza nga bwebolekedde okuva mu muli olwamafutaokwekanama songa nebikozesebwa byabussanga, bwatyo gavumenti agiwadde gabuwa okusitukira okutasa embera nga ebyenfuna tebinaggwa muddubi.