Amawulire

Emmere gyotekedwa okulya ng’osiiba.

  1. Amazzi: ku muntu asiiba, amazzi kikulu nnyo kuba gatwala ebitundu 60 ku 100 eky’obuzito bw’omuvubuka ate omukulu ebitundu 55 ku 100.
  2. Emmere ezimba omubiri: Emmere eno nkulu mu bulamu bw’omuntu okutwaliza awamu okulwanyisa endwadde ate n’okukuuma ennyama y’omubiri. Obutabeera na nnyama kisobola okuvaako okufuna omugejjo, puleesa n’ebirala. Muno mulimu; yogati,

amata, ebyennyanja, amagi, ennyama y’embizzi, enkoko naddala ebisambi, emmere ey’ensigo ng’ebijanjaalo n’ebirala. 3. Amasavu amalungi: Abantu

abamu batya amasavu era bwe babeera basiiba tebaagalira ddala kugalya. Amasavu

amalungi ga mugaso okukuwa amaanyi, okuzimba ebirungo mu mubiri, ebbugumu ate n’okukuuma ebitundu by’omunda, okukozesa Vitamiini D, E n’endala kw’ossa

eddagala ly’obutonde kuba bino biyita mu masavu si mazzi. Amasavu gano ogenda kugafuna okuva mu butto w’ebinazi (Olive), ovakkedo n’ebinyeebwa.

  1. Enva endiirwa: Enva endiirwa ziyamba mu kutumbula obulamu bw’omuntu era nnungi okugatta ku mmere yonna gy’olya. Ebigwagwagwa ebisangibwa mu nva endiirwa bikola ku kitundu ekikola ku mmere mu mubiri, okwoza omubiri n’okulongoosa obulamu bwonna okutwaliza awamu.

Enva endiirwa ezisingamu ebiriisa z’osaanira okulya ng’osiiba kuliko: emboga, sipinachi, bbulokoli, kolifulaawa n’endala.

  1. Ebibala: Ebibala bisobola okuba ng’emmere etandikirwako ng’osiiba. Wabula osaanira kulonda bibala ebirina sukaali ow’ekigero oba omutono ddala kuba sukaali

omungi asobola okuleeta obuzibu mu lubuto nga lukola ku mmere ne kitta omugaso

gw’okusiiba.

Ebibala by’olina okulya kuliko:

Enkenene enzungu, enkenene enzirugavu, Kiwi, amapeera, apo, enniimu, ovakkedo, ennyaanya n’ebirala

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top