Amawulire

Emmotoka esuuliddwa mu kisenyi etiisizza abatuuze.

Emmotoka kika kya  Toyota Premio esaangiddwa ng’erekeddwa mu kkubo wakati mu lusenyi ku kyalo Bugenge mu ggombolola ye Mateete mu district ye Ssembabule, wabula nga teriiko namba.

Wabula okusinziira ku kapapula k’omusolo akagiriko kaliko enamba UAT 320K mu mannya ga Kalyesuubula Gyaviira.

Abatuuze abamu bateebereza nti nannyini yo yaliba nga  yagudde mu batemu n’ebamutta n’ebamusuula mu lusenyi luno oba nti ng’ababbi bagibbye neebalemerera.

Emmotoka esangiddwa ku makya ng’esimbiddwa mu kkubo erijjudde ettosi mu lusenyi ng’etokota, bakanze kulinda nnyini yo okumala esaawa eziwera nga tevaawo, abatuuze nebatemya ku poliisi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top