katikikiro Charles Peter Mayiga kuutidde abantu obutadduka mu byalo nga beeyunira okugenda mu bibuga naye babeeko byebakolera mu byalo ebikyuusa obulamu bwabwe basobole okulaakulana.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku kyalo Kabula mu Butambala ew’Omulimi w’Emmwanyi, Ssentongo John Kyamaanyi mu nteekateeka ya Mmwanyi Terimba ku Lwokubiri.
“Tulina endowooza nti ebirungi biri mu kibuga era abantu bangi bakadde babwe bwebabawa ettaka oluusi nga bakyali balamu nga balitunda nga beeyunira ekibuga, abalala babalinda kufa nebalitunda. Ekyamazima mu kibuga ebirungi gyebiri naye nemu kyalo, kisinziira ggwe kyosazeewo okukozesa ettaka eryo kitaawo lyaba akuwadde,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza
Owek. Mayiga asabye abalimi b’ emmwaanyi okukyusa obulamu bubeere bulungi wadde nga bali mu kyalo era bakole ebyo ebyandyegombesezza abalala okuddukira ku kibuga.
Abakuutidde okwongera okulima emmwaanyi era bakyuuse endaba y’ebintu nga bagula ebyuma eby’omulembe ebisobola okulima n’okufukirira banguyirwe omulimu.
Era Mayiga alabudde abantu ku kulinda omuntu okujja okubayamba nga abaggya mu bwavu naye banoonye abayinza okubawa amagezi kubanga bulijjo balandiza kibaze.
Mukuumaddamula era asabye abakulembeze okwenyigira mu nteekateeka ezikulaakulanya abantu butereevu era bafeeyo okulaba ng’obubaka bunnyikira mu bantu bakulaakulane.
Minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu ba Beene, Owek. Israel Kazibwe Kitooke yeebazizza Kamalabyonna olw’okuzibula Bannabutambala amaaso nebalima emmwaanyi okugatta ku ntangawuzi namayirungi.
Ye Omulimi Ssentongo John akuutidde abantu okulima okukutwala ng’omulimu kuba kumusobozesezza okulambulwa Katikkiro neyeeyama okugenda mu maaso n’okulima emmwaanyi wansi w’Emmwanyi Terimba.
Ssentongo akunze abantu okudda mu byalo balime nga batandika n’ekitone basobole okulaakulana era bulijjo banoonyenga okumanya okusobola okugenda mu maaso.
Mu kulambula kuno Katikkiro Mayiga awerekeddwako, Minisita Noah Kiyimba, Minisita Amis Kakomo n’abakungu abalala.