Amawulire

Empere ya Panda kata ekutule abasajja emigongo!

Endongo ya Crystal Panda katta ekutule abasajja emigongo anti buli omu yabadde ayagala kuzina nga bw’afunya omugongo n’okukkirira wansi okukakasa nti yasinga.

Olwabadde okumuwa akazindaalo, Panda yatandikidde ku kayimba ke aka Empere nga kano kacamudde bangi ne katuuka n’okubaggya mu ntebe zaabwe okuzina amazina ago ag’empere.

Omu kw’omu obwedda be bamulumba ku siteegi nga bawakana okusingana mu kuzina amazina g’empere ng’eno enduulu bw’ekubwa abaasigadde batudde, wadde ng’abamu obwedda beekuba obwama nti abasajja emigongo tegibamenyekerako awo.

Crystal Panda ono y’omu ku bayimbi abaasanyusizza abantu eggulo ku mukolo kkampuni ya Nile Breweries bwe yabadde eyongera okukakasiza abantu nga Club kati bwakolebwa ku mutindo ogwa waggulu.

 

.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top