Poliisi y’eggwanga eraze engeri Abakwatammundu gyebalumbye abakuuma ku mulyango abajaasi eggulo ku Lwokuna nebatta omu ku bakuumi awamu n’emmundu 2 nnamba e Jinja.
Wadde okusooka amawulire galaze nti obulumbaganyi buno bw’abadde ku mulyango oguyingira mu Balakisi ya Gaddafi e Jinja naye poliisi egamba nti bano babadde tebanatuuka ku mulyango naye wazira egimu ku misanvu egisooka okusangibwa nga tonatuuka ku Balakisi.
“Byetuzudde biraga nti bano balumbye emsinvu egisooka webakeberera abantu eweesudde kiromita nga emu okuva ku mulyango oguyingira Balakasi ya Gaddafi ewali emititititi. Balumbye omukuumi Sgt. Eyamu Simon Peter nebamufumita mu kifuba era nebamukuba amasasi asatu agamuttiddewo,” Fred Enanga bw’ategeezzza nga ayita mu kiwandiiko.
Enanga agamba nti bano olwamaz okutta Eyamu batutte emmundu ye awamu neya munne eyabadde agenze ku kaduuka akaliraanyewo okubaako Sigala gwagula era poliisi egamba nti abatemu bano balabika bamaze ekiseera nga beetegereza abajaasi bano.
Okusinziira ku kiwandiiko kya poliisi abalumbaganyi bano oluvannyuma badduse nga tebatuuse ku mulyango guyingira Gaddafi nga bwekyasoose okutegeezebwa era kino kiraga nti ekigendererwa kya bano kyabadde kutwala emmundu abajaasi bano zebabadde nazo.
“Ebitongole byaffe eby’ebyokwerinda nga bikolaganira wamu byasazeeko ekitundu kyonna awamu n’embwa ezikonga olusu era okukakkana nga waliwo akwatiddwa oluvannyuma lw’okusangibwa nga yekweese mu mufulejje so nga n’omujaasi eyaleseewo munne nagenda kudduuka naye akwatiddwa okubaako byayongera okunnyonnyola,” Enanga bw’ ategezezezza
Enanga agamba nti eby’okwerinda bakyagenda mu maaso n’okukungaanya obujulizi bwonna obuyinza okubatuusa kwabo bonna ababadde mu lukwe luno.
Ebikolwa bino byeyongedde ensangi zino nga wadde nga poliisi yavaayo negumya abantu nga bwekola buli kimu okudda mu nteeko.