Engeri ekirwadde kya kovidi gye kigiyezza bannadiini n'ebizinesi ez'enjawulo
Amawulire

Engeri ekirwadde kya kovidi gye kigiyezza bannadiini n’ebizinesi ez’enjawulo

Temporibus autem quibusdam et aut officiis debitis aut rerum necessitatibus saepe eveniet ut et voluptates repudiandae sint et molestiae.

P

Okuva ekirwadde kya covid-19 kituuka mu Uganda omwaka oguwedde, abantu abakola emirimu egyenjawulo bazze bafuna okusomozebwa, olw’okuba bizinesi mwe bali bafuna ekigulira magala eddiba tezikyatambula nga bwe zali ng’ekireadde tekinalumba uganda. Ekirwadde nga kyaksbalukawo, ebintu omuli amasinzizo, ebivulu, amabaala, ebyemizannyo n’emikolo egikunganirwako Abantu abangi byayimirizibwa nga gavumenti etya ekirwadde kino okusasana mu bantu.

Pasta samwel Rwandasa owa mt. Lebanon e Mukono agamba nti okuva ekirwadde kino kibalukawo, bbo ng’abasumba bafuna okusomozebwa olw’endiga ezeyiwanga ku kkanisa nga tezirina kyakulya. Ekiseera ekyo, kyali kyaffe abasumba okufa kundiga eziwa ekimu eye kkumi, mu kiseera ekyo nga tezikyakola Mu kulangirira ekigambo kya Katonda, omusumba Rwandasa  agamba nti mu kiseera ng’amasinzizzo maggale, bakozesa nga emikutu gya socil midia okubulira engiri, kyokka ng’abantu batono abagoberera bye twalinga tubabulira. Abantu bangi bononese olw’ekirwadde, nga n’abamu bakyalemye okudda mu kkanisa nga bekwasa ekirwadde kya covid

  1. Engeri ekirwadde gye kikendedde mu bantu, tusaba gavumenti egyewo ekkomo lye yateeka ku masinzizo, Abantu baddemu okusinza Katonda wabwe nga bwe gwalinga.

Faaza Paul Ssebitoogo ono nga yakulira klezia ya St. Paul e mukono ategezezza nti ekiseera ekirwadde kya covid-19 bwe kyabalukawo, klezia yekolamu omulimu okusobola okuyamba abakristu naddala abakadde abali obubi ennyo, tuli bassanyufu okulaba nga Kati ekirwadde kikendedde mu bantu ate n’okulaba nga tufunye n’eddagala, tusuubira ekiseera kyonna gavumenti egenda kugyawo omuggalo ku bizinesi n’omuwendo gw’abantu mu klezia gweyongere.ekiseera kino abakristu baffe babaddenga bemulugunya olw’abasiliksle abaddenga babagyamu sente n’okubatwalira ebintu naddala nga basangiddwa mu budde bwa kafyu. Tusaba gavumenti obudde obwo ebujjewo.

Kalungi Fred Ono nga ye manager wa festino cite agamba nti musanyufu okulaba ng’ekirwadde kya covid-19 kikendedde mu gwanga ate n’okulaba nti ne Uganda yafunye eddagala lya covid-19, tusuubira nti pulezidenti okuddamu okwongera agenda kuba aggulawo ebifo byonna ebikyali kumuggalo. Abantu bakyatya okujja mu bifo ebissnyukirwamu olwa poliisi okubayiribyanga n’okubagyamu sente ng’ebasanzeyo.

Mark kabunga ono nga ye mwogezi w’a basuubuzi mu kibuga mukono agamba nti,’’bizineesi nnyingi mu kibuga mukono n’okwetolola eggwanga lyonna  tezikyatambula bulungi olw’embeera ya covid-19 n’ekikoligo kya kafiyu ebikyalemeddewo yadde ng’ekirwadde kikendedde ate nga n’eddagala lyamaze okutuuka mu gwanga.Tusaba gavumenti okutunula n’okussira loosi abasuubuzi abo zebayitamu olw’okuba n’obudde obutono.

Haruna Mbaziira Ono nga mutegesi wa bivulu  yategezezza nti okusinziira mumbeera eriwo, gavumenti yandibadde nabo ebalowoozako abayimbi ne batandika okukuba Abantu omuziki, n’abo ng’abategesi bebivulu, ba MC, neba DJ basobole okufuga kokulya. Mbaziira agamba nti gavumenti yandibadde ebakwatira ekisa n’ebaggulaeo kuba omwaka oguwedde gwonna gwabasala ate kovidi okugya yabasanga n’amabanja.

Ensonda ezesigika mu gavumenti zategezezza ssekanolya nti gavumenti eyinza okugyawo omuggalo mu May nga pulezidenti museveni amaze okullayizibwa nga pulezidenti, nga n’obwegugungo naddala abatamukiririzamu nga bukendedde.

Engeri ekirwadde kya kovidi gye kigiyezza bannadiini n’ebizinesi ez’enjawulo
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top