Amawulire

Engeri elyato gye lyase abantu mukaga ku nyanja Nalubaale.

Polisi y’okumazzi mu tundutundu lya Ssezibwa nga bali wamu n’abatuuze mu bizinga be Buvuma saako ne kumwalo gwe Kiyindi mu district ye Buikwe baliko emirambo esatu gy’abo bamu ku bantu omukaaga abagwa munyanja akawungeezi ka sande bwebali batambulira mu lyato ku mazzi nge Nyanja Nalubaale.

Ku bazuliddwa kuliko Geoffery Kumutya 35 nga mutuuze we Kiyindi ng’ono abadde musubuzi ku kukidyeri okuva e Kiyindi okudda e Buvuma Godfery Maveya 19 ng’ono mubulizi wa njiri ng’ono ne munne ababadde bava  ku mwalo gwe Lwanika mu district ye Mayuge nga bagenda Namatale okubulira enjiri saako ne Fred Walwasi ng’ono akola ku lyato nga’situla mugungu . Ate abakyanonyezebwa kuliko Vincent Lumu 26 ng’ono naye abadde mubulizi wanjiri, Benon Twejukye 40 ng’ono abadde amanyiddwa nga Kanyakore ng’aba yeybadde omugoba we lyato ne Mutebi  Deo 20 ng’ono abadde musituzi wa migugugu ku kidyeri.

Abagenzi n’abarala abakyanonyezebwa babula akawungeezi ka sande ewedde, bwebasibula okuva ku mwalo e Kiyindi mu district ye Buikwe ngabolekera mu ggombolola ye Bwema nga bakozesa elyato elisabaza abantu kyokka nga kumulundi gunno elyato lino okubira lyali litiise omusenyu saako n’amayinji amanene, era nga kiteberezebwa okuba ng’elyato lino lyabira wakati we kyondo  kya Mpunga ne Nyende okumpi mwalo gwa Kirongo.

Patrick Ssemowgerere omu ku balaba ng’elyato lino lisibula okuva mu mwalo gwe Kiyindi agamba nti elyato lino lyali lijjuzidwa amayinja saako n’omusenyu ebyekokoto, era ng’enteekanteeka lya Twejukye ( Kanyakore) yali yakusooka kutuusa babulizi banjiri banno ababbiri ku mwalo gwe Kirongo n’oluvanyuma ye yogereyo n’oluggendo olw’okutambuza amayinja n’omusenyu e Namatale mu Buvuma gye bali mu kuzimba project ya mazzi.

 

Okusinzira ku batuuze  bagamba nti okubira kwelyato lino kwadibadde nga kwavudde ku mpewo enyingi nga kiteberezebwa okuba nga yeyakubye elyato lino, Yobu Sserwanga nga mutuuze ku mwalo gwe Kiyindi agamba nti elyato lino lobaddega lisabaza bantu saako ne migungu wabula nga kumlundi gunno sibwekyabadde nga lyabadde lisitudde amayinja amanene nga kirabika embeera bweyatabuse ababaddemu balemereddwa okutikula amayinja ganno okwetaasa obuzito olwo elyato lyonna nelibira.

Godfery Luiga ng’ono ya ddumira poliisi y’okumazzi mu kitundu kino ekya Ssezibwa agamba nti emirambo essatu gye bakazulako gisagiddwa mu kitundu kye Busagazi mu ggombolola ye Bwema mu district ye Buvuma, wabula ng’omuyigo gw;okulaba nga n’abantu abarala abasatu balabika nagwo gukyagenda mu maaso saako ne lyato.

Amir Kiggundu Oweddembe ng’ono kansala ku lukiiko lwa Kiyindi tawuni kanso nga y’omu kubali ku muyigo gw’abantu banno agamba n’okutuusa kati bakyalwana okulaba nga bazula wa elyato we liri, wabula nga kiteberezebwa okuba nga waliwo welyatubidde olw’obuzito bwamayinja amanene agabadde ngatikiddwamu.

Monday Kifulukwa omu ku bagoba ba mato e Kiyindi agamba nti embeera gye bali mu kiseera kino yakiyogobero oluvanyuma lw’okufuna amawulire nga banabwe baffiridde mu Nyanja

Ono akabenje kanno akatadde ku kutiika kabindo elyato lino ebintu ebyali bisuka ku byelirina okutwala ate nga n’embeera mwelyali teyali nungi.

Emirambo gikuganyizidwa ku mabali ku mwalo ekiyindi nga poliisi bwekola enteekateeka y’okugitwala mu gwanika e kawolo okwogera okwekebejjebwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top