KKAMPUNI ya MTN yaleetawo ebbugumu mu bantu bwe yalangirira engeri omuntu gyayinza okugula emigabo mu kkampuni eno nga yeeyambisa essimu ye.
MTN yawaayo emigabo obuwumbi buna n’ekitundu (4.5) eri abantu ku ssiringi 200/- buli mugabo era ng’emigabo emitono giri 500 nga gino givaamu 100,000/= .
Emigabo gino gifunibwa mu miteeko nga yenna ayagala okugula asaba emigabo okuva ku 500, 1000, 1500 n’okugenda waggulu.
MTN ng’eyita mu Uganda Securities Exchange(USE) yatandika okutunda emigabo okusobozesa Bannayuganda bonna okufuna obwannanyini mu kkampuni eno. Emigabo egimu gigabirwako ennyongeza abakozesa MTN Mobile Money nga bayita ku USSD oba MyMTN app bafuna ennyongeza ya migabo 10 ate abakozesa enkola endala nga okuwandiika empapula oba abayita mu USE bafuna emigabo 5 egy’ennyongeza.
Kati gino gy’emitendera gy’ogoberera okusobola okusaba emigabo.
Ekisooka olina okuba ne SCD akawunti nga ye y’emigabo. Okuggulawo akawunti eno, onyiga *165*65#. Londawo ekisooka okuwaayo akawunti, olwo ojja kwetaagibwa okujjuzaamu nambayo ey’endaga muntu (NIN – CM950…) Londako kayungirizi omu, awo londa namba 1 okukkiriza enkola n’obukkwakkulizo. Yingizaamu enamba ttaano eza pini ya Mobile Money oteekemu ogobereze ebikubuuziddwa. Bwoba nga omalirizza okuweereza, ofuna obubaka obukakasa okuggulawo SCD akawuntiyo n’ebigikwatako.
Ebyo nga biwedde, ogenda mu maaso okugula emigabo ng’okozesa Mobile Money nga; onyiga *165*65#, awo bajja kukujjukiza okusoma ebikwatagana ku nteekateeka eno, awo londa ekisooka eky’okwegulira emigabo.
Awo ojja kusabibwa okuyingizaamu SCD akawuntiyo n’ebigikwatako era olukalala lw’emigabo lujja kweraga olondeko gw’oyagala era oyingizeemu pini okukakasa nti oguze.
Okusaba nga oyita ku MyMTN app
Bwoba olina essimu seereza(smart Phone) wanula app eya MyMTN, olondeko Uganda Securities Exchange ekutwala awalala awakubuuza oba olina akawunti oba nedda. Bwoba tolina, londawo ‘nedda’ osobole okuggulawo akawuntiyo. Kyokka bwoba olina, londawo SCD akawunti olwo osabe emigabo nga ogoberera ebikulagirwa. Emigabo giva ku mitwalo 10 okutuuka ku bukadde 5. Bano beebamu ku bakayungirizi baffe; SBG securities Uganda Limited, Crested Capital, Old mutual finance service Uganda Limited, Dyer & Blair investment bank oba Equity Stock Broker.
Mu East Africa n’abali ebweru waayo nabo baweeredwa engeri y’okusaba emigabo gya MTN Uganda.
Ekitunda nga keeke eyokya wano e Uganda gy’emigabo egiri eyo mu buwumbi obuna n’ekitundu, MTN gye yalangiria.
Omukisa guno gulaga nti kati Bannayuganda basobola okwegulira ku migabo gino olwo nabo nebagabana ku bwa nnanyini bwa kkampuni eno.
Wim Vanhelleputte, ssenkulu wa kkampuni eya MTN yagambye nti kino kyagendererwamu kuzza kkampuni mu bantu b’eweereza.
Wadde nga omukisa gwasookera ku bannayuganda, MTN era yawa abantu bo mu East Africa enyongereza ya migabo 5 ku buli migabo 100 gy’ebagula
Eno y’engeri abatuuze mu East Africa gyebayinza okufuna ku migabo etaano gy’ennyongereza.
Nabo balina okubeera ne SCD akawunti ,atagirina asobola okugiggulawo nga oyita ku mukutu gwa USE ku kibanja https://scd.use.or.ug/. Kkopi ya passport yetaagibwa okuggulawo akawunti, kyokka nga bannakenya abalina endaga muntu yaabwe, basobola okugiwaayo era ssinga omukutu guno guba tegufunise, osobola okukwatagana ne bakayungirizi baffe okusobola okuyambibwa mu kuwaayo KYC form naye nga kkopi ya passport n’obufaananyi bitungiddwako.
Bwomala okufuna SCD akawuntiyo, ojja kusobola okugula emigabo nga oyitira ku kibanja ekyo naye ssinga aba nga tasobodde kufuna mukutu guno, asobola otuukirira omu ku bakayungirizi baffe .
Ate Bannayuganda abali mu mawanga ag’ebweru gye bayinza okweyambisa omukisa gw’okugula emigabo gya MTN.
Kampuni MTN Uganda bwe yavuddeyo n’eruŋŋamya nti Munnayuganda naye alina okwefunira emigabo 5 egyennyongeza ku buli migabo 100 gy’anaaba aguze, obubaka okuva ku mikutu mugatta bantu nabwo bulaze obwagazi bwa bannayuganda abali mu Diaspora, bw’okugula emigabo, nti bweyongedde era nabo basobola okwetaba mu kugula emigabo gino
Obutafaanaganako ne Bannayuganda ba wano abakozesa MTN MoMo nga bagula emigabo, bano abali ebweru wa Uganda balina kukozesa USE easy Portal wabula enkola zonna zikwetaaza okuba ne SCD akawunti emigabo kwegigulirwa.
Okuggulawo SCD akawunti nga okozesa endaga muntu (National ID).
Bannayuganda bano abali ebweru nga balina endaga muntu ya Uganda entuufu, basobola okuggulawo akawunti zaabwe nga bakozesa USE ku kibanja (https://scd.use.or.ug/) era nga wano baakuwaayo ebibakwako bino.
Erinnya lye, obuzaale bwe, endga muntu y’eggwanga lya Uganda nga eriko ebbanga ly’ewangaala, endagiriro n’engeri gyoyinza okutuukibwako Okugeza essimu, woobeera, olina okulaga wa gyogya ensimbi zoyingiza mu nsawoyo, banka n’ebikwata ku akawunti mwotereka ensimbi zoofuna, era kikwetaagisa okusaako endaga muntuyo wamu n’obufaananyibwo obutono.
Kino nga kiwedde, wetaaga okulonda kayungirizi kwabo abakuweereddwa ku mukutu. Era oluvannyuma ojja kusabibwa okukkiriza enkola n’obukwakkulizo ebigobererwa, era olwo ojja kuba nga weefunidde SCD akawuntiyo.