ebyemizannyo

Engeri Olutalo Lwa Russia Ne Ukraine Lutataaganyiza Omupiira

Russia: Engeri Olutalo Lwa Russia Ne Ukraine Lutataaganyiza Omupiira

Wiki gyetwakakuba emabega eggwanga erya Russia erikulemberwa Vladimir Putin lwaguddewo olutalo ssinzigu ku ggwanga lya Ukraine naye nga kino kitaataganyizannyo omuzannyo gw’omupiira mu mu biti binji.

Omupiira gwa liigi mu mawanga gombi.

Eggwanga lya Ukraine nerya Russia gombi galina liigi z’omupiira eza maanyi omuva kirabbu ez’amaanyi naye liigi zino zakutaataganyizibwa naddala nga mu Russia bannansi beekalakasa lwa ggwanga loyabwe kulumba Ukraine ate nga ne mu Ukraine amasasi gavuga.Omutendesi wa Dynamo Kyiv Mirceu Lucescu yategeezeza nga bwataddayo waabwe mu Romania nti ye ssimutitiizi.

Okutaataganya “Champions ne Europa League”.

Omukulembeze wa Uefa Alexander Ceferin atuuziza enkiiko ez’enjawulo era nga ekigendererwa kya

kulaba wa empaka za Chapion wezinaazanyibwa ezaakamalirizo nga ziino zaali zalambikibwa kuzanyibwa ku Krestovsky mu Saint Petersburg. Waliwo n’okutaataganyizibwa mu kirabbu za mawanga gano eziri mu mpaka za Champion ne Europa league nga Dynamo Kyiv ne Zenit.

Ekikopo ky’ensi yonna.

Amawanga gombi gayitawo okugenda ku kakungunta akasembayo okukiika mu za World Cup wabula nga emipiira gyakuzanyibwa mu mwezi ogwokuusatu naye nga tekimanyiddwa oba amawanga gano ganabeerawo okwetaba mu mpaka zino.

Singa embeera essajjuka, omuzannyo gw’omupiira n’emirala gyakongera okutaataganyizibwa.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top