Amawulire

Enkaayana Za Inzhu Ya Masaba, Umukuuka Omulala Avuddeyo Nga Agamba Ye Mutuufu

Enkaayana Za Inzhu Ya Masaba, Umukuuka Omulala Avuddeyo Nga Agamba Ye Mutuufu

Endooliito no kulwanagana mu bwa kabaka bwa Bugisu (UMUKUUKA) byeyongera buli olukya nga mukiseera kino wafubutuseeyo omulala ategeezezza Abamasaba nti ye Umukuuka omutuufu empewo ze Bugisu gwe zalonze oluvannyuma lwa baliyo okudda mu ntalo, Masolo Yaaya Gidudu Richard agamba asibuka mu nda ya Mwambu nga bano be balina okuvaamu Umukuuka akulembere ekisanja kino.

Mu buwangwa bwa Bamasaba, Umukuuka akulembera ekisanja kimu kya myaaka 5, era balina enda 3 ezivaamu abafuzi be nnono bano, zino ye Mwambu, Mubuuya ne Wanale nga Umukuuka eyasooka Wilson Wamimbi yava munda ya Wanale, omugenzi Sir Bob Mushikori yali ava mu nda ya Mubuuya, kati ekisanja kino kya nda Mwambu naye balemeddwa okukkakanya bali mu kulwanagana. Mu kiseera kino Masolo Yaaya Gidudu Richard naye wajjidde  nga ababiri bali mu kusikagana nga bakaayanira nnamulondo ya Umukuuka, bano ye John Amram Wagabyalire ne Jude Mike Mudoma bano buli omu agamba nti ye Umukuuka, Masolo Yaaya agamba nti entalo ze balimu ziremesezza ennono za Bamasaba okukulaakulana no kutumbula ebyo buwangwa bwa Bwaabwe, ssaako omugabo gwaabwe gwe balina okufuna mu gavumenti ya wakati.

Buli mukulembeze we nnono alondebwa, pulezidenti Museveni amuwa emmotoka na bakuumi, bano tebannafuna mmotoka ya Umukuuka kubanga pulezidenti akyabuliddwa omutuufu gwaaba agiwa, olwe ntalo zebalimu.

Bo abamu ku Bamasaba be twogeddeko nabo bagamba nti ekizibu ekiriwo abakulembeze be nnono bennyini tebamanyi kiki kye balina kukola, ye nsonga lwaaki bali mu ntalo, betaaga kumala kusooka kusomesebwa bategeere kye balina kukola, era basaana batwaale ekyo kulabirako bayigire ku bwa Kabaka omutali ntalo, nga Buganda, Tooro ne Busoga engeri ebyo buwangwa  Bwaabwe gye bikuzeemu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top