Amawulire

Enkalu ku ani yetegekedde obulungi akalulu ka 2026, Muhoozi, Museveni ne Bobi Wine

Newankubadde eggwanga ly’akava mukalulu ka 2021 akali aka vaawo mpitewo era nga embiranyi yalinyo mumakati gga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awamu ne Kyagulanyi Ssentamu Robert abasinga gwebakazaako erya Bobi Wine.

Akalulu ako kaleeka ebibuuzo bingi mubantu era nga bakira abasinga balowoza nti Kyagulanyi oluvanyuma lw’okulemererwa okumegga Museveni mukalulu nti oba yali alinawo entekateeka endala nga okukozesa eryanyi sinakindi okunga abawagizi bekalakaase nga bwegwali nga banansi ba Philippines bwebakikola mumwaaka gwa 1986 nga bajako nakyemalira Ferdinand Marcos eyali abakalakase nga enjogera y’ensangi zino bweri okumala emyaka 20 wabula kino Bobi Wine teyakikola.

Okusinzira kubatunulirirzi b’ebyobufuzi, bagamba nti ensangi zino abamu kubegwanyiza Entebbe mumwaaka gwa 2026 batandika dda okusagula obuwagizi wano kubutaka kwosa nebweru w’egwanga era nga tukuletedde amannyi gabano bona nengeri gyebali mukwetekeratekera akalulu akajja.

  • Gen Muhoozi Kainerugaba

    Muhoozi

Wadde nga bikyali byamunkuubo nti mutabani w’omukulembeze w’eggwanga yandiyingirawo nga eryannyi etto okubinsanya ne muvubuka mune eyatambuza muzeyi we akananjinaji mukalulu akawedde, obubonero obuliwo bulaga nti kitufu mwana mulenzi ono yandiba nga mwetegefu nnyo okusikira entebbe ya kitawe singa naye abera nga ajitadde mukisanja kino.

Wadde nga obuwagizi bwe bukyali bwamuswaba nnyo, “Muhoozi Project” nga enŋŋombo emuyambye nnyo okubunyisa kakuyege we mubavubuka naddala abo abalina kebekoleddewo.

Newankubadde nga tananyikiza kwosa n’okumatiza ebimu kubikoonge mukibiina ekya NRM kitawe kyakulembera era nga abamu kubo bagamba nti sibetegefu kumuwagira singa kitawe anabera awumudde nga kino kinajukirwa jebuvuddeko nemubigambo bya eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya bweyagamba nti ye simwetegefu kumuwagira. Kino kiretawo akasera akazibu eri omukulu ono okuba nga ezimu kumpagi mukibiina ate tezinamwaniriza.

Wabula mungeri y’okwetekera tekera embeera, Muhoozi alabiddwako nga asisinkana abakulembeze ba amawanga agetolodde eggwanga Uganda omuli Kenya, Rwanda, Ethiopia, Egypt awamu nabakulembeze abalala.

Kino banji bakiraba nga akawenda kasobola okuyitamu okunyweza ebyokwerinda byegwanga lino singa wabawo obulumbaganyi bwona obuyinza omukolebwako mumbeera singa akalulu aba akatute, nga kino kiba kimuyambako balabe be obatasenzebwa munsi ezo eziriranye Uganda okukubawo enkambi okusinzira eyo okukola enumba.

  • Kyagulannyi Ssentamu Robert (Bobi Wine)

Bobi Wine

Era nga bwekyogerwa nti ekigwo ekimu tekirobera mwana kutambula, Kyagulanyi naye alabika okuba nga obuwagizi bwalina kubutaka abwongeddeko eryanyi ery’enjawulo era nga asula afumba kungeri janayita mubutego obumu singa akasera kanabera katuuse.

Ono alikukawefube ow’okubunyisa ekibiina kye okwetolola egwanga lyona nga atekayo yafisikwosa nokukozesa empenda ezenjawulo okusisinkana abantu mubitundu byegwanga ebyenjawulo nga abamatiza, ate nga neky’okubera nababaka mu lukiiko olukulu olw’egwanga abava mukibiina kye abawera nakyo kimuyambyeko okufuuka ssegwanga muby’obufuzi byawano.

Kulukalu lw’omudugavu Africa, Bobi Wine obuwagizi abulinannyo muboludda oluvuganya gavumenti era nga mubakulembeze abafuga ensi, alinayo wa Zambia yeka  amanyikiddwa nga Hakainde Hichilema ate nga naye yali avuganya gavumenti nga tanawangula kalulu mwaka oguwedde.

Bobi Wine bweyalaba guli gutyo, yasalawo enimi zze kuzikanyuga mumawanga gaba kyerupe eranga eno newankubadde tebinatambula bulungi, akoze kyamanyi okumanyisa ensi kukiki ekigenda mumaaso wano mu ggwanga.

Ono ebimu kubikolwa ebize bikolebwa abakuuma ddembe kubanansi byasinze okuyitiramu nga awaaba mubazungu era nga eno gyasinzira okusaba amawanga gano gateke nati kubamu kubanene mu gavumenti.

Mumwaaka gwa 2019, Bobi Wine yateeka omusango mu kooti yensi yona nga awawabira pulezidenti Museveni olw’okutyobola eddembe ly’obuntu wabula oluvanyuma lw’akalululu ka 2021 n’okutibwa kwabantu 54 mukwekalakaasa okwaliwo mu 2020, munamateeka Bruce Afran kulwa Bobi Wine yakyusa mumpaaba ya Bobi nayongerako Muhoozi Kainerugaba kwosa nabanene abalala era nga yamuyambako nnyo n’okukola alipoota eyekuusa kukutulugunya abantu kwosa nokutyobola eddembe lyabwe eyafulumizibwa nga 4/Feb/2021.

Mumpaaba eyasoka, Bobi Wine nga ali wamu ne Hon Zaake Francis ow’e Mityana kwosa nomunayuganda eyawawangukira mu America oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa ab’ebyokwewrinda amanyikidddwa nga Amos Katumba batwala gavumenti yakuno mukooti yensi yona nga bajivunaana okutyobola eddembe ly’obuntu .

America ewa billiyoni ya dolla namba buli mwaka eri Uganda okujiyambako kuby’okwerinda era nga buno bwebumu kubuyambi Bobi Wine bwayagala bulekere awo okuwebwa Uganda nga agamba nti buno bukozesebwa bubi.

Kuntandikwa y’omwaka guno Bobi Wine yasisinkana Paliyament ya European Union esangibwa mu kibuga Brussels mu Belgium era najisaba nti ereme kukoma kukyakufulumya biwandiko nga evumirira gavumenti yakuno wazira ekolewo nakatiisa.

Ono negy’ebuvuddeko era yaliko nemu Switzerland ku Geneva Summit era nga neno yayongera okusaba amawanga gaba kyerupe okukomya okukolagana ne mwami Museveni awamu ne gavument ye.

Kino kitaddewo akazito eri gavumenti yakuno olw’okubanga Kyagulanyi akozesa akawenda akokulabisa nga enjogera y’ensangi zino weri ekimu kubiviriddeko nabanene abamu okutekebwako zzi natti ekintu ekinafuya munkola y’emirimu mu gavumenti.

Engeri gyekiri nti Uganda tenaba kwetengerera munsonga zebyenfuna, singa amawanga gano gasalawo okukola akatiisa eggwanga lyandiraba ekyenjawulo mukalulu akaddako.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top