Amawulire

Enkuba erimu omuzira ne kibuyaga ow’amaanyi kye koze e bugerere.

Enkuba ebaddemu kibuyaga ow’amaanyi n’omuzira, egoyezza ebintu mu magombolola abiri mu district ye Kayunga, abaayo n’ebaleka nga bajaasimula bugolo.

Ebyalo ebikoseddwa bisangibwa mu gombolola ye Kitimbwa ne Busaana.

Abantu 7 bebaddusiddwa mu Ddwaliro ng’embeera yabwe mbi , oluvannyuma lw’enju okubagwira mu njega eyo.

Omwami w’akabaka era nga y’akiikirira e Ssaza Bugerere mu lukiiko lwa Buganda Charles Walugendo, embeera eno agisibye ku bantu bennyini abongedde okusaanyawo emiti, nga kati embuyaga ekunta nga bweyagala awatali kigikwata, ekigiviirako okusuula amayumba n’okusanyaawo ebirime.

Ssentebe w’eggombolola y’e Kitimbwa Michael Malinga,  agambye nti abantu abasinga tebasigazza mmere, n’ennyumba zigudde so nga n’obujjanjabi tebabulina.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top