Amawulire

Ensi ya Togo erangiridde akaseera ak’akazigizigi mu bitundu byayo.

Togo erangiridde akaseera ak’akazigizigi mu bitundu byayo eby’omu bukiikakkono olw’abalwanyi b’akabinja ka jihadi abaalumba ekitundu ekyo, era Gavumenti eyungudde abaserikale abawanvu n’abampi okubafufuggaza.

Gavumenti ya Togo etegeezezza nti embeera eno ya kumala emyezi esatu nga kisobla okwongezebwayo okusinziira Palamenti bw’enaaba esazeewo.

Bannabyakwerinda ba kukozesa akaseera kano okukozesa enkola ez’enjawulo okulwanyisa abampembe Abajihadi ababadde abkola obulumbaganyi ku bannansi entakera omuli okubawamba n’okubatta.

Okusalawo kuno kuddiridde  obulumbaganyi obwakolebwa akabinja kano ku nsalo ya Togo ne Burkina Faso, ne mufiiramu bannansi ba Togo munaana n’abalala bangi ne bafuna ebisago.

Abajambula bano basaasaanye mu mawanga ga Afrika omuli Mali, Niger ne Burkina Faso, nga kigambibwa nti balina akakwate ku kabinja ka bannalukalala aka al-Qaeda nákalala aka Islamic State.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top