Abasuuzi abassuka mu 300 ba babade bakolera ku mabali ge g’oluddo e Maddu mu disitulikiti ye Ggomba nga bano babade mu nteekateeka kwekwata emidaala gy’akatele town council k’egenda okuzimba kibawedeko bwe batuuse ku kifo we bagenda okukola nga kifunda okusinzira ku muwendo gwabwe.
Bano basoose mu lukiiko olwetabiddwaamu Mmeeya w’e Maddu, Nnalongo Jane Kalumba n’abamu ku bakansala b’ekitundu nga wano abasuubuzi balaze okwemulugunya eri abakulembeze ababatwala nga bagamba nti emidaala 60 nga tegiyinza kumala.
Entabwe evudde ku ssente obukadde 800 ezigambibwa nti zaaweebwa ekibiina kya Islamic Fund ne Local Gaverment (LEG) okukulaakulanya ekitundu nga bazimbira abasuubuzi akatale abakulembeze babagamba nti balinawo obukadde 500.
Kino kiggye abasubuuzi mu mbeera ne batandika okwerangira ebisongovu olw’obotabeera beerufu .
Mmeeya Jane Kalumba yennyamidde n’ategeeza nti abasuubuzi balina eddembe okumanya ekigenda mu maaso naddala mu by’enkulaakulana kuba pulojekiti y’akatale ebakwatako.