Amawulire

Ensisinkano ebadde eyitiddwa sipiika wa parliament egudde butaka.

 

Ensisinkano ya sipiika wa parliament Anita Annet Among ,akulira oludda oluvuganya government Owek Mathias Mpuuga Nsamba n’abakulu mu kakiiko k’eggwanga akalondoola eddembe ly’obuntu etudde okwogera ku nsonga zabannansi ababuzibwawo , tevuddemu kalungi, oluvannyuma lwaba commissioner bakakiiko k’eddembe ly’obuntu obutalabikako mu nsisinkano eno.

Ensisinkano eno yayititiddwa sipiika Anita Among okwogera ku nsonga zabannansi ababuzibwawo ebitongole by’ebyokwerinda ,abooludda oluvuganya government berubanja government, wabula  government nebegaana nti temanyi gyebali.

Akulira oludda oluvuganya yasaba watondebwewo akakiiiko kekiramuzi aka Judicial Commission of Inquiry kekaba kaginoonyerezaako n’okuzuula ebikwata ku bantu ababuzibwawo, ng’agamba nti akakiiko k’eddembe ly’obuntu kaali kagisaagiddemu, wabula sipiika yagaana okuyisa ekiteeso ekyo, n’ayita akakiiko k’eddembe babeeko byebatesaako.

Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti ssentebe w’akakiiko k’eggwanga akeddembe ly’obuntu Mariam Wangadya nti wadde yayitiddwa neba commissioner be bonna, yekka yalabiseeko n’abakozi abalala babiri, ba commissioner bakakiiko kano tebalabiseeko.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top