We twatuukiddeyo leero abadde bayimbi banne abagenda okumuyambako ku kivvulu kye ekiriyo wiiki ejja nga January 13.
Abakubi b’ebyuma alina bakugu bokka nga mu bano mwe muli Micheal Ouma eyabaddeyo okutendeka abakuba ebivuga okusobola okulaba nti batuuka ku lunaku mulindwa nga buli kimu kiri tala tibu.
Eno twasanzeeyo abayimbi okuli Pallaso, Nince Henry ne Daddy Andre nga nabo bagogola ku maloboozi okukakasa nti tebakiyiwa.
Spice Diana agambye nti essaawa eno emmeeza wasigaddewo ntono ddala kubanga bangi abaziguze mu nnaku eziyise, ate nga ne tiketi bagenze bongera okuzigula. Ekivvulu kino kiwagiddwa kkampuni ya Vision Group efulumya n’olupapula lwa Bukedde.