Eyali yabula emyezi 7 emabega basanze yafira mu kibira nga n’engu’mba ze zivunze.
Abatuuze ku kizinga ky’e Buyanga mu ggombolola y’e Bubeke mu disitulikiti y’e Kalangala babuutikiddwa entiisa oluvannyuma lw’okugwa kubisigalira bya munnabwe eyabula emyezi musanvu emabega.
John Matovu yabula ku mwalo guno era abatuuze baasamba ensiko wamu ne poliisi okumunoonya kyokka nga buteerere.
Omugenzi tamanyiddwako banganda ze era abatuuze ne poliisi basazeewo okujjira nga baziise ebisigalira bye mu limbo y’ekyalo okutuusa ababe lwe balijja bamutwale.