Amawulire

ERYATO LISSE BABIRI, GISO ALUMIRIZA POLIISI Y’OKUMAZZI OKULYA ENGUZI

Enjegga ebuutikidde abatuuze n’abavubi ku mwalo gw’e Mawotto mu Ggombolola ye Mpatta e Mukono, eryato bwe lyabikka abantu bataano mu nnyanja mu kiro ku Sunday era abantu babiri ne bafiiramu.

 

Ababadde ku lyato lino bonna babadde basuubuzi ababadde batwala ebyamaguzi byabwe ku mwalo e Luzira mu Kampala.

 

Wo ku mwaalo e Mawotto gibade miranga na kwaziirana ng’emirambo gy’abantu eryato beryayiye mu nnyanja okuli Kenneth Mutalwa 18 ne Onzere Martin nga ginnyululwa.

Era kigambibwa eryato lyebbise nga lyakatambulako nga kitundu kya kilomitta okuva ku mwalo weryasimbudde.

 

Abaalabye eryato lino nga lisimbula bagamba nti lyabadde litisse kabindo nga kusingako nku na nsawo za mere ate nga ku nnyanja kwabaddeko embuyaga.

 

Ye akulira omwaalo guno Said Kirunda agamba kuluno bakukolera wamu n’abebyokwerinda okulaba nga  balwanyisa n’okusanyawo amaato agali mu mbeera embi

 

Florence Kyembuga nga ye kansala atwaala ekiundu kino ku district, agamba kye kiseera abantu be mpatta bafunye ekidyeeri kisobozese abantu okutambula mu mbeera enungi.

 

“Ekiseera kino abavizi bamaato bakolera mu wasiwasi abavirako okutikka obubindo ate nga amaato gabwe gali mu mbeera embi gavumenti yalituwade entambula eyawamu” Kyembuga bwategezeza.

GISO we Ggombolola ye mpatta Hamidu Lubowa ategezeza nga bwe bafunye okulwanyisa amaato agali mu mbeera embi wabula abalunnyanja tebawulira, ono agaseeko ne poliisi y’okumazzi okulyavenguzi neleka amaato gaganyegenya ku nnyanja.

 

“Nze nga GiSO we Ggombolola nkoze ogwange naye obuzibu buli wakati mu nyanja poliisi ayina sente nga emuwewa elyato newliba nga liri mu mbeera embi” Lubowa Bwagamba.

 

Oluvannyuma lw’okulinda poliisi okuva e Mukono nga tejja, abenganda basazeewo okuwala abafu baabwe okubaziika.

 

Omwaalo guno gumanyiddwa nga ogwa basuubuzi era gusinga kutikka nku ne mmere ebigenda e Gabba ne Luzira.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top