Amawulire

Eyabba ensawo y’obutunda waakuliwa emitwalo 40 .

Omuvubuka akkirizza omusango gw’okubba ensawo y’obutunda aweeredwa ekibonerezo kya kukola bulungi bwansi asasule ne nnannyini butunda.

Tom Mugerwa 28 nga mutuuze w’e Salaama mu munisipaali y’e Makindye y’aweereddwa ekibonerezo ky’okukola bulungi bwansi okumala essaawa ttaano n’okuliyirira gwe yabbako obutunda oluvannyuma lw’okukomezebwawo mu kkooti ya LDC e Makerere mu maaso g’omulamuzi Martins Kirya n’akkiriza omusango guno.

Nga December 2, 2022 mu zooni ya School View mu Kampala Mugerwa yabba ensawo y’obutunda eyali eya Paul Kibirige ng’ ebalirirwamu emitwalo 40.

Mugerwa yazzeemu buto okusomerwa omusango era n’agukkiriza, omuwaabi wa gavumenti n’ategeeza nga  Mugerwa bw’asazeewo okukkiriza omusango aweebwe ekibonerezo kyakukola bulungi bwansi okumala essaawa ttaano wamu n’okusasula emitwaalo 40 mu bbanga lya myezi mukaaga.

Mugerwa lwe yasimbibwa mu kkooti okumusomera omusango, omulamuzi yamubuuza lwaki yabba obutunda n’ategeeza  kkooti nga bw’amaze akabanga ng’akolagana ne Kibirige nga yali amusuubulako obutunda ng’  abutunda n’amuwa ssente ze naye ensawo y’obutunda eyogerwako yamubulako .

Omulamuzi yagenda mu maaso n’amubuuza kiki ky’alowooza Kibirige ky’ayagala era mu kunnyonnyola kwe yategeeza nga Kibirige bwe yeetaaga ssente ze era nga mwetegefu okusasula Kibirige n’asaba kkooti yeeyimirirwe asobole okugenda okuyiiya asasule Kibirige.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top