Omugagga azze mu kkooti n’asonyiwa owa Bodaboda gwe yawa pikipiki ne bagimubbako omulamuzi agaanyi okumuyimbula, ‘sooka ogendeko mu kkomera oveeyo ng’ofunye obuvunaanyizibwa bw’okukuuma ebintu bye bakuwadde’.
James Muyingo y’azze mu kkooti ya Nateete Rubaga e Mengo n’asonyiwa Ronald Ssempijja 20, omugoba wa Bodaboda gwe yawa Pikipiki ekika Bajaj Boxer UEL 420Q ebalirirwamu obukadde bubiri n’ekitundu ne bagibba.
Olwamaze okumusomera omusango nti, Ssempijja nga July 30, 2022 e Nateete yabba pikipiki eyo, yategeezezza kkooti nti teyagibba wabula kasitoma we ow’olulango yennyini ye yamulimbalimba nti alina by’agenda okutwalirako mu kyalo n’agibuzaawo n’okutuusa kati tebagifunanga.
Omugagga yategeezezza kkooti nti “omuvubuka oyo musonyiye kuba kati sikyalina kyakuzza nzikirizza nfiirwe era nsaba fayiro eggalibwewo”.
Omulamuzi Adams Byarugaba yamutegeezezza nti newankubadde amusonyiye kati omusango Gavumenti egweddizza.
“Ngenda kusooka nkusindike e Luzira okutuusa nga December 21, 2022 okiyige nti omuntu bw’akuwa ekintu kye otwala obuvunaanyizibwa okukikuuma butiribiri era ndabula n’aba Bodaboda bonna abatafaayo ku mateeka agabaweereddwa ku kidduka ne mulagajjalira ebintu bya bakama bammwe, bwe banaakuleeta wano nja kubasindika mu kkomera gye munaggweramu obulagajjavu”.
Ssembijja yakanze kwewozaako naye nga tekikyasoboka era bw’atyo n’ayolekera ku meere gy’anaava kkooti esalewo oba ddala asaana okuyimbulwa.