Amawulire

Eyafudde nga yaakava okudduka emisinde gya Kabaka , aziikiddwa

Eyafudde ng’ava okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka aziikiddwa wakati mu miranga okuva mu booluganda n’emikwano.

Tonny Lukwago Kiwenda 50, abadde abeera e Namungoona mu munisipaali y’e Lubaga gy’abadde akolera egy’obubazzi yatondose n ‘afa nga yaakamaliriza okudduka emisinde gya Kabaka egyabaddewo ku Ssande.

Lukwago ne banne tebaagenze mu Lubiri Kabaka gye yasimbulidde emisinde wabula baagiddukidde ku kyalo ng’abantu ba Kabaka abamu bwe baakoze mu bitundu ebirala.

Mu badduse Lukwago yakutte kyakuna wabula baabadde baakatuuka we babadde balina okumalira emisinde n’agwa wansi era banne baasose kulowooza nti akooye kyokka baagenze okulaba nga embeera ye eyongera kutabuka kwe kumuddusa mu ddwaliro lya Namungoona Othodox gye yafiridde nga baakamutusaayo.

Okusinziira omu ku bakulembeze Twaha Katende, omugenzi omutima gwesimbye ekyamuviiriddeko okufa.

Ono aziikiddwa Bombo Kalule mu disitulikiti y’e Luweero ng’abantu bamwogeddeko ng’omusajja abadde ayagala ennyo abantu.

Sarah Nakirayi omutongole wa Kabaka ku kyalo Namungoona Zooni 1, omugenzi kwabadde abeera yamwogeddeko ng’omusajja abadde ajjumbira ennyo enteekateeka z’Obwakabaka.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top