Wabaddewo akasattiro ku minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga , omusajja bwe yagenze n’omusota mu kisawo okusaba paasipooti.
Omusajja ono amannya gakisiddwa, eyabadde anekedde mu ssuuti, yatadde abasirikale ku bunkenke bwe yabikudde ensawo nga mweguli ate nga munene , era n’abategeeza nga bw’alina okutambula ne mugandawe.
N’olwensonga eyo, ab’ebyokwerinda mu kifo ekyo, bagaanyi omuntu yenna okugenda mu kifo ekyo n’ensawo ennene.
Omwogezi wa minisitule eno Simon Mundeyi, ategeezezza nti kino kikoleddwa okwongera okunyweza eby’okwerinda n’okwewala okutaataaganya abantu mu kifo ekyo.
Mu kusooka era Mundeyi ategeezezza nga bwe bakyatubidde ne pasipoota eziwerako bannyinizo nga bagaanyi okuzikima okuva mu ofiisi zaabwe e Kyambogo,Mbale, Mbarara , Ggulu so nga ne mu mawanga agwebweru nayo bwekiri.