Amawulire

Eyakkakkana ku mukadde w’emyaka 80 n’amutimpula bamulagidde okuliwa obukadde 3.

Omusajja eyakakkana ku Nnamukadde ow’emyaka 80 n’amukuba emiggo n’atuuka n’okukwata enkumbi n’asima ekinnya n’amuziika okukoma mu kifuba, kkooti egumusingisizza n’emulagira aliwe obukadde busatu.

Dennis Henje 37, ow’e Nakulabye mu Lubaga y’atanziddwa ssente zino oluvannyuma lw’okusingisibwa ogw’okukuba Christine Namayega (80) n’amutusaako obuvune.

Bw’abadde awa ensala ye, omulamuzi Amon Mugezi owa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ategeezezza nti, Henje omusango yaguzza nga January 27, 2021 e Nakulabye era okusinziira ku bajulizi bonna abana Nnamukadde be yaleeta baabuulira kkooti obujulizi obukwatagana ekikasa nti omusango yaguzza.

Kyakakasibwa nti Henje yasanga Nabayega mu maka ge n’atandika okumukuba emiggo era nga kino tekyamumalira n’afuna enkumbi n’asima ekinnya n’amuziika era abatuuze be baataasa. Gervin Mayega muzzukulu wa Nnamukadde naye yannyonnyola kkooti nti yali ku kizimbe ekimu n’alengera omusajja ono ng’akutte omuggo akuba jjajjaawe n’amuziika.

Omuserikale DC Albert Kisembo eyakola okunoonyereza yategeeza kkooti nti Omukadde ono yajja ku Poliisi nga yenna avulubanye ettaka era n’omusawo Dr. Ojara eyamukebera yamulaba ng’alina ettaka n’ebisago.

Mu kwewozaako, Henje yategeeza kkooti nti ku lunaku olwo waaliwo okukola oluguudo ttulakira n’esima ettaka nga Kirabika omukazi we yeesiigira ettaka.

Omukadde ayongendde n’ategeeza omulamuzi nti Henje ayagala ku mutwalako kibanje kye era akyagenda mu maaso n’okumutiisatiisa okumutta ng’ayita mu bibaluwa kirokitwala omunaku.

Henje yafukamidde ku maviivi neyeetondera Nnamukadde wabula ng’asiwa nsaano ku mazzi, yakanze kwegayirira Omukadde n’afuluma kkooti nga bw’ategeeza nti yetondere mulala kuba oyo yali ayagala kumusanyaawo.

Omulamuzi Mugezi alagidde Dennis okuliwa obukadde busatu ng’obukadde bubiri zaakuliyirira Nnamukadde ate akakadde ffayini ya Gavumenti. Amutegeeza nti ssente zino zaakusasula wakati w’omwezi gumu nga bw’alemererwa waakusibwa mwaka mu kkomera.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top