Amawulire

Eyakwese muka Minisita anyonyodde mu webyabadde.

Rehema Nakiwala akola ku ‘mobile money’ e Kyanja, eyabudamizza muka Minisita Charles Okello Engola oluvannyuma lw’omukuumi Pte. Wilson Sabiiti okukuba bba amasasi embeera eyabaddewo aginyumya nga lutabaalo.

Nakiwala ye alina edduuka kw’addukanyiza bizinensi ya ‘mobile money’ agamba nti embeera eyabaddewo ku Lwokubiri ku makya, yamusanze ne muka Minisita, Joyce Ayikoru Okello. Nakiwala eyasangiddwa e Kyanja abinyumya bw’ati:
Amasasi okutandika muka Minisita yabadde yaakatuuka we nkolera ng’azze okuteeka ‘airtime’ ku ssimu ye.

Engeri gye tulinawo edduuka ly’engoye n’ensawo, amasasi olwatandise muka Minisita twamusabye ayingire tuggalewo kyokka yasoose kuwalira ng’agamba nti ayagala kumanya ekigenda mu maaso.
Twabadde tukyasobeddwa ne zireeta Pte. Sabiiti ng’agenda ayogerera waggulu nti, “Minisita mumaze” eno nga bw’ayongera okutulisa amasasi mu bbanga.
Kino kyawalirizza Ayikoru, okwesogga mu kayumba ka ‘mobile money’ n’asirikira omwo.

Sabiiti ng’amaze okuyita we twabadde, twazzeemu okumuwulira ng’ayolekera mu zzooni ya Katumba awali saaluuni mwe yeekubidde amasasi.”
Nakiwala agamba nti, wano muka Minisita yafunye obuvumu n’afuluma akayumba wabula n’asaba Nakiwala amuwe omu ku bawala be bamuwerekereko ng’addayo awaka.

Bwe yabadde tannasimbula, yasoose kukubira omu ku bakozi b’awaka eyategeerekese nga Dorcus n’amubuuza oba bali bulungi n’amutegeeza nti balina we baabadde beekukumye.

Oluvannyuma yatambudde okwolekera amaka gaabwe kyokka bwe yatuuse ku ggeeti amaaso gaatuukidde ku bba ng’agahhalamye wansi okumpi n’emmotoka ye mu kitaba ky’omusaawa, nga n’omuyambi we, Lt. Ronald Otim alia ku mabbali alaajana.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top