Eyaliko omubaka wa Makindye West, mu lukiiko lweggwanga olukulu era nga yaliko senkagale wekibiina kye byobufuzi ekya JEEMA, Hussein Kyanjo mukama amunyuludde okuva munsi.
Ono nga yali munnabyabufuzi aterya ntama afiridde mu ddwaliro e Kibuli gyabadde afunira obujanjabi.
Ebizibu by’ebyobulamu bya Kyanjo byatandika mu 2011 mu lugendo lwa palamenti e South Afrika. Yagamba nti bwewayitawo ennaku bbiri nga ali kulugendo luno, yakitegeera nti yali afunye obuzibu mu kwogera.
Bweyekebejebwa abasawo, yazuulibbwa ng’alina obulwadde bwa dystonia, obulwadde obuva ku bubenje oba obutwa ate oluusi buba bwa nsikirano.
Mu kiseera kye ng’omubaka wa Palamenti, Kyanjo yafuna ekitiibwa olw’okufuba okukola ku nsonga z’embeera z’abantu, okulwanirira eddembe ly’obuntu, n’okulwanirira ensonga z’ebitundu ebisuuliddwa ku mabbali.
Okusinziira ku kibiina kyébyóbufuzi ekya JEEAMA, Omugenzi agenda kusabirwa leero ku muzigiti e Kibuli ku ssaawa 10 era omulambo gwe gugenda kutwalibwa mu disitulikiti y’e Bukomansimbi okuziikibwa Olunaku lw’enkya ku ssaawa Munaana.