Omuvubuka eyayingira mu muzigo gwa mukwano gwe n’aggyayo essimu n’agitunda olw’okuba yali amubanja, kkooti emusindise ku limanda e Luzira okutuusas nga June 13, 2023 omusango gutandike okuwulirwa.
Ronald Ainemugisha 28, makanika nga mutuuze w’e Nalukolongo mu Lubaga y’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Omulamuzi Amon Mugezi n’amusomera ogw’obubbi.
Kigambibwa nti nga April 27, 2023 e Nalukolongo ku ssaawa 9.00 akawungeezi, Ainemugisha yayingira ennyumba ya mukwano gwe Jimmy Ndimuhora n’abbayo essimu ekika kya Tecno ebalirirwamu emitwalo 50 eyali ekyaginga n’abulawo okutuusa lwe yakwatibwa.
Olwamaze okumusomera yakkirizza omusango wabula n’ategeeza kkooti nti essimu yagitwala era yagitunda naye teyagibba nga bwe bimusomeddwa wabula yagiwamba kubanga yali amubanja emitwalo 200,000 ze yamuwola.
Annyonnyodde nti ono yali azannya zzaala ekyuma ne kimukuba naye olw’okuba teyalina ssente n’amuwola wabula olw’okuba yalwawo okumusasula kwe kusalawo atwalemu essimu mu nkola y’okwesasula.
Omulamuzi Mugezi yamutegeezezza bulijjo okukozesa amateeka bw’abaa ayagala okusasulibwa. Kkooti yakitutte nti omusango agwegaanyi n’asindikibwa mu kkomera e Luzira gy’anaava atandike okwewozaako.