Amawulire

Eyeepikidde abakazi 2 bamukanudde n’afiira mu loogi.

 

Ddereeva wa ttakisi eyeepikidde abakazi babiri, apangisizza loogi n’asooka yeepima mu gw’asoose ne zidda okuywa.Bw’amumaze n’anona owookubiri ne lukoya kyokka oluvanyuma atondose omulundi gumu n’afa.

Ssalongo Muhammad Mukungu 55, dereeva wa ttakisi ku kyalo Burunduhira mu ggombolola ye Dabani e Busia, yaffiridde mu loogi ya Mwesigwa Guest House ku kyalo Kisenyi A. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga ya gambye nti Ssalongo Mukungu yayingira loogi ku saawa 2:00 ez’ekiro ne muganzi  we eyasooka era n’amala naye esaawa ssatu, oluvanyuma n’amuwerekera ku saawa 5:00 ez’ekiro.

Yagambye nti Ssalongo bwe yali akomawo mu loogi okwebaka, yafuna omukazi omulala okweyongera okwesanyusa mu kiro kuba omukazi gwe yabadde asoose okufuna yabadde amuwerekedde naddayo awaka.

Yategeezezza nti wakati mu kwesa empiki, Ssalongo yazirise oluvanyuma n’akutuka n’afa ekyakanze omukazi gwe yabadde naye. Ono yadduse n’ategeeza maneja wa loogi n’ayita poliisi eyatute omulambo mu ddwaliro ly’e Busia okugwekebejja.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top