Amawulire

FDC etandise okunoonya Pulezidenti w’ekibiina omuggya.

Ekibiina ki FDC kitandise okunoonya Pulezidenti w’ekibiina omuggya anadda mu bigere bya Eng. Patrick Oboi Amuriat oluvannyuma lw’ ekisanja kye okuggwako mu mwaka gwa 2020.

Okusinziira ku bakulu mu kibiina kino, ekisanja kya Oboi Amuriat ekisooka eky’emyaka 3 kyaggwako mu 2020 wabula olw’embeera ya COVID-19 tebasobola kutegeka kulonda wabula ono alina omukisa okuddamu navuganya.

Kinajjukirwa nti  Amuriat yalondebwa mu mwezi gwe 11 mu 2017 oluvannyuma lw’okuwangula Gen Mugisha Muntu mu kulonda okwayindira mu kisaawe e Namboole.

Omwogezi w’ekibiina kino,  Ibrahim Ssemujju Nganda akakasizza nti ebbanga eryayongerwa Amuriat lyava ku kirwadde kya COVID-19 okusobola okutwala ekibiina kino mu maaso.

Ssemujju agumizza bannakibiina kino obuteeraliikirira kuba enteekateeka zonna zigenda mu maaso okutegeka akalulu bannakibiina basalewo oba Amuriat bamwongera ekisanja oba nedda.

Kinajjukirwa nti okuva ekibiina kino lwekyatandikibwawo kyakafuna abakulembeze basatu nga eyasooka ye Rtd.Col Dr. Kizza Besigye ne Gen.Mugisha Muntu awamu ne Patrick Oboi Amuriat eyamazeeko ekisanja kye ekisooka.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top