Ekibiina ki Forum for Democratic Change (FDC) kyasabye gavument eteekewo akakiiko akeetengeredde okwekeneenya emisaala gy’abakozi bonna abagavumenti era gyongezebwa mukifo ky’okwongezaako abamu ababeera beekalakaasizza.
Bino byayogeddwa amyuka Ssaabawandiisi wa FDC, Harold Kaija bweyabadde ayogerako ne bannamawulire ku Mmande nategeeza nti emisaala gy’abakozi bano nsonga nkulu etalina kubuusibwa maaso.
“Bwebateekawo akakiiko akekeneenya emisaala , kajja kulowooza ku buli mulimu ne ssente zebalina okufuna mu misaala. Kino kijja kukendeeza ku kattu Pulezidenti Museveni kaalimu kati kuba ye muntu yekka asalawo ku misaala abantu gyebalina okufuna,” Kaija bweyategeezezza.
Okusinziira ku Kaija singa akakiiko kano kaba katondeddwawo abakozi tebagenda kuddamu kwekalakaasa kuba bajja kuba bamanyi gyebalina okulaga singa babeera si bamativu n’omusaala gwebafuna.
Ebigambo bya Kaija bisanze abasomesa ba gavumenti abamasomo agatali ga Saayansi (Arts) bali mu keediimo nga bawakanya emisaala emitono gyebafuna.
Era wano Ssaabawandiisi w’ekibiina ekitaba Abasomesa mu ggwanga ki Uganda National Teachers Union (UNATU), Filbert Baguma yategeezezza ku Mmande nga abasomesa bwebatagenda kudda mu bibiina okutuuka nga gavumenti ebongeza omusaala.
Bano baagala bongezebwe okuva ku kakadde kamu n’emitwalo 80 egiweebwa aba Ddiguli n’emitwalo 795000 eziweebwa aba Dipulooma zituuke ku bukadde 4 aba Ddiguli ate aba Dipulooma baweebwe emitwalo 95.
Kati gavumenti yategeezezza nga bwegenda okusisinkana aba UNATU basalire wamu amagezi ku nsonga eno.