Amawulire

First lady akwatiddwa Poliisi ku by’okubba emmotoka.

Poliisi mu Ggwanga lya Zambia ekutte omukyala w’eyali Pulezidenti Edgar Lungu ku misango 3 omuli okwenyigira mu kubba emmotoka.

Esther Lungu ali mu kaduukulu ka Poliisi mu kibuga Lusaka ne banne basatu .

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga lya Zambia Danny Mwale, abakwate era bali ku misango gy’okubba ebyapa by’ettaka mu bifo eby’enjawulo mu kibuga Lusaka.

Mu ngeri y’emu bali ku misango gy’okusangibwa n’ebintu bya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka.

Mu kiseera kino, bangi ku Baminisita, abali abakozi mu Gavumenti n’abamu ku bantu mu famire ya Lungu, bali ku banoonyerezaako ku misango egy’enjawulo mu ggwanga lya Zambia.

Kigambibwa bangi benyigira mu kubba ebintu eby’enjawulo omuli ssente, okwenyigira mu kutta abantu, okutyoboola eddembe ly’obuntu, okwenyigira mu kulya enguzi n’emisango emirala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top