Amawulire

Fortebet Ewadde Ab’e Katosi ‘Life Jackets’ Za Bukadde

Fortebet Ewadde Ab’e Katosi ‘Life Jackets’ Za Bukadde

Kkampuni ya Fortebet ekyayongera okulaga nga bweyettanira okulaba nga Bannayuganda bonna baba balamu. Ku wiikendi ewedde, Kkampuni eno yatonedde abavubi ku mwalo gw’e Katosi jjaketi z’okumazzi (life jackets) ezibalirirwamu obukadde bw’ensimbi obuwere.

Jjaketi zino zaaweeredwayo ambasada wa Fortebet, Alex Muhangi wamu n’akulira ebigenda mu mawulire, John Nanyumba. Abavubi era baaweereddwa ne masiki.

Nga yaakamala okubakwasa jjaketi, Muhangi yategeezezza nti, “Ennyanja ssi ya muzannyo. Bw’oba oli ku mazzi ennyanja n’etabuka emikisa gy’okuwoma giba mitono. Kale buli lw’oba ogenda ku mazzi, jjukira okwanbala jjaketi eno. Tubaagala balamu mwenna.”

Erisa Katongole nga ayogera ku lwa banne yagambye nti, “Kino Kkampuni ya bbeetingi ky’etukoledde teri kkampuni ya bbeetingi ndala yali ekikoze. Mwebale nnyo Fortebet olw’omutima oguddiza abantu.”

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top