Amawulire

Gavumenti ebuliddwa obujulizi obuluma Faaza we masaka

Gavumenti ebuliddwa obujulizi obuluma Faaza we masaka

Wiiki ewedde omuwaabi wa gavumenti e Masaka yagye emisango gy’obutemu ku bwanamukulu w’ekigo kye Bisanje Faaza Richard Mugisha ne sentebe w’ekyalo kino Joseph Mutayomba olw’okubulwa obujulizi obubaluma nti ddala be bavaako okufa kwa  Ronald Kyeyune eyasangibwa ekiro nga yekukumye mu mmotoka ya Faaza Mugisha ekika Kya Kawundo mu kigo Faaza mwabeera.

Faaza Mugisha yategezezza SSEKANOLYA ku ssimu nnti, kyandibadde Kirungi ebitongole bya gavumenti naddala poliisi okusooka okukola okunonyereza okumala nga tebannaba kussa  misango mikakali ku bantu, kuba bangi amannya gabwe gafa, kyokka ng’ebitongole ebyo bibuluddwa obujulizi ku misango egyo.

Poliisi ye Masaka yaggula omusango ku faaza Mugisha ne ssentebe w’ekyalo Bisanje Joseph Mutayomba ng’ebavunana  ogw’okutta Ronald Kyeyune eyabuuka ekikomera Ky’ekigo n’ayingirira Faaza n’ekigendererwa eky’okubba mmotoka ye gye yali amaze okwasa endabirwamu, oluvannyuma lw’enduulu abatuuze bakwata Kyeyune ne bamukwasa poliisi, kyokka oluvannyuma n’afiira mu kaddukulu ka poliisi e masaka.

Akulira okunonyereza kubuzzi bwemisango mubendobendo lye masaka Innocent Mbangizi yategezezza ssabawabi wa gavumenti nga bbo aba poliisi bwe babuliddwa obujulizi obusobola  okumatiza kooti nti ddala Faaza Mugisha ye yatta oba okuviirako Kyeyune okufa, era wano  ssabawabi wa gavumenti kwe kusalawo okutegeeza Looya wa Faaza Mugisha ayitibwa  Alexander Lule nti omusango gavumenti eguvuddemu olwokubulwa obujulizi.

Faaza Mugisha bwe yabuziddwa bwawulira oluvannyuma lw’omuwaabi wa gavumenti okubulwa obunulizi obumulumu  nti ddala ye yatta Kyeyune ye yategezezza SSEKANOLYA nti okuva lwe nawulira ebisangosango ebyali biziguddwako, mbadde mukiseera ekyokwegayirira  n’okusaba okwamanyi mukamawange gwensinza  Yezu okusobola  okuswaza abo bonna abali  abanjwetekako ebisango olw’ebigendererwa byabwe, era Yezu mannyi  wange gwempereza  abadde tayinza kukirizza muwereza we kuswazibwa ng’abamu kubaanabyabufuzi bwe babadde bagala okukola era yensonga lwaki n’obujulizi bwababuze.

Bwe yabuziddwa oba asuubira okuliyiririrwa gavumenti olw’okubulwa obujulizi ate n’erinnya lye eryonionye, Faaza musisha yategezezzaa SSEKANOLYA nti bayibuli gyasoma emugamba nti teyereganfa n’amubi, kale talaba nsonga lwaki yeleega ne gavumenti ate ng’agimsnyi nti mbi era emisango egyo gyonna yagimusako lwakuba yali awagira Bobi Wine mu kulonda okuwedde, n’ategeeza nti yali waddembe okumuwagira kuba eklezia bulijjo ebeera kuludda lwabo abanyigirizibwa ng’omulundi guno abali kuludda oluvuganya gavumenti bebali basinga okunyigirizibwa.

Ono yatuuse n’okutegeeza nti ssinga teyabadde  faaza yandibadde naye addukira mu kooti, n’awabira  gavument eno okusobola okutereeza ebitongole byayo naddala ebinonyereza kumisango eminene ng’ogwabadde gumuguddwako, ng’ayagala ebitongole ebyo obutamala gakola bintu nga tebamaze kwekkanya, n’okukola okunonyereza okumala, Wabula n’agamba nti,  mubulamu bwokunsi kuno  mwetutambulira, erinnya likolebwa bantu era ly’ononebwa bantu, Kati ye Faaza asoma bayibuli, ng’ate bayibuli egamba nti omuntu talina kwereganga namubi, n’olwekyo ebintu byonna ebijja mubulamu bwe nga Faaza alina okubikwata mungeri ya kisajjakikulu era bwatyo n’ategeeza nga bwasonyiye abo bonna abali emabega w’okumulumba n’abo abamusako ebisangosango n’ekigendererwa eky’okumwononera erinnya.

Faaza Mugisha yagambye SSEKANOLYA nti okuva poliisi  lwe bantekako ebisango  nti nze nali  era nti ddala  Ronald Kyeyune, omutemu eyali alumbye mu kigo  mukigo mwenaila , ate n’afiira mu kaddukulu ka poliisi, neyongera okwewuunya ekigendererwa Kya poliisi, wabula ne tulindirira okulaba ebiva mu kunonyereza , era ndowooza eggwanga lilaba nti n’obujulizi bubuze.

Abantu bebuuza nti, “Lwaki poliisi  ye Masaka teyasooka kutwala musajja Oyo mu ddwaliro, bwaba nga ddala yali akubiddwa, n’esalawo okumuggalira mu kaddukulu kaayo ku poliisi e Masaka mwe yafiira, ndowooza balina ekigendererwa ekikusike naye Yezu natusobozesa okuwangula byonna bye batusibako.

Ye omusumba we ssaza lye masaka bishop serevenus Jjumba yatugambye nti bbo ng’eklezia babadde balindiridde kulaba kiki ddala ekinava mukunonyereza kwa poliisi. Jjumba yagambye nti ensonga ezivunanibwa Faaza Mugisha ssi za butemu wabula zirimu eby’obufuzi kuba okuva lwe yakiraga nti ali kuludda olunyigirizibwa omwali Bobi Wine, embeera enzibu yatandika okumutuukako,naye abakulu baffe mubyobufuzi balina okumanya nti Faaza yenna waddembe okuwagira omuntu yenna mubyobufuzi kasita abeera nga tayawukayawula mubantu bakulembera kuba ebyobubuzi biri buli wantu era biri mubantu Faaza Oyo babeera akukembera

“Nga akulembera essaza lino, eklezia ebadde etambula bulungi ne Faaza Mugisha era ng’alungamya gavumenti we kisanudde kuba Klezia ebeera kuludda lwabatulugunyizibwa era ababeera obubi, kale nze ng’omusumba we mbadde musisinkana n’emulungamya mu bintu bingi era naffe tubadde tulinze omusango gwe bamuggulako, olwo tusalewo ekiddako, bwatyo omusumba Jjumba bwe yategezezza SSEKANOLYA ku ssimu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top