Amawulire

 Gavumenti  efulumizza olukalala lw’abatujju abaludde nga batta abantu.

 

Gavumenti mu ggwanga erya Kenya efulumizza ‘list’ y’amannya ku batujju abaludde nga batigomya eggwanga.

Ku ‘list’ kuliko abantu 35 okuli bannansi ba Tanzania, German, Bungereza, Bangladeshi nga bangi bannansi ba Kenya.

Abatujju baludde nga batega bbomu ku nguudo ez’enjawulo ne batta abantu n’okusingira ddala ku luguudo lwe Lamu-Witu-Garsen.

Kigambibwa, abamu ku bantu abali ku ‘list’ bebaakola obulumbaganyi ku kitebe kya America mu bitundu bye Manda Bay e Lamu mu 2020.

Okusinzira ku Minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga, abantu bonna abali ku ‘list’ babulabe nnyo era kwe kusaba abantu bonna okuyambagana okutuusa nga bonna bakwatiddwa.

Okunoonyereza kulaga nti abamu ku batujju, basibuka mu kabinja ka al-Shabab.

Gavumenti esuubiza okuteekawo ekirabo eri omuntu yenna ayinza okubayamba okufuna omutujju yenna kuba kigenda kutaasa eggwanga lyonna.

Wabula waliwo ebigambibwa nti abamu ku batujju, bava mu kabinja ka al-Qaeda.

Mu kiseera kino Kenya eyongedde ebyokwerinda mu nsi yonna n’okusingira ddala ku nsonga zonna eziyingira mu ggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top