Amawulire

 Gavumenti ekkirizza ebitongole okuddamu okuwandiisa abakozi.

Minisitule evunanyizibwa ku nsonga z’abakozi ba government eya Public Service, kyadaaki ekkirizza okuggyawo ekkoligo ly’obutawandiisa bakozi ku bitongole bya government ebimu, okubisobozesa okukola emirimu.

Minisitule ya public service n’olukiiko lwa ba minister gyebuvuddeko baayisa ekkoligo ku bitongole bya government byonna ne mu government ez’ebitundu, obutaddamu kuwandiisa bakozi bapya  nti kubanga government ebadde terina ssente zakubasasula misaala n’ensako.

Ebitongole bingi bizze byekubira enduulu nga bigamba nti ekkoligo lino likosezza  entambuza y’emirimu naddala nga tebamanyi lwerigenda kukomekkerezebwa.

Akulira ba ssentebe ba district zonna mu Uganda, mu kibina kya Uganda Local Government Association, era ssentebe wa district ye Kabalore, (ULGA), Patrick Rwabahinga, gyebuvuddeko yawanjagira government okuddamu okuwandiisa abakozi,olw’okusoomozebwa kwebabadde bayitamu.

Era yategeeza nti wadde government yakkiriza okwongera ku muwendo gw’abasawo mu malwaliro g’okumiruka ne ggombolola ku ku ddwaliro lya Health Centre IV, kati walina okubaayo abasawo 5 ku mutendera gwobwa principal doctor, nabalala abasawo 3 ababayambako, nti naye enteekateeka eno tessibwanga mu nkola olw’ekkoligo ly’obutakkirizibwa kuwandiisa bakozi ekikosezza obujanjabi mu malwaliro.

Akulira eby’obujjanjabi eby’ekikugu mu ministry y’ebyobulamu Dr. Henry Mwebesa agambye nti mu nsisinkano gyebabaddemu  n’abakulu mu ministry ya public service, ensonga eno yagoonjoddwa era bakiriziddwa okuddamu okubaako abakozi bebawandiisa mu bifo ebikalu ebyetaaga okujuuliriza,  nga bakozesa ssente eziriwo zireme okuzzibwayo mu ggwanika ly’eggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top