Amawulire

Gavumenti ekungubagidde Kato Lubwama.

Abakungu ba government ,bannakatemba abayimbi, n’abantu abalala bakungubagidde Paul Kato Lubwama, gwebatenderezza nga bw’abadde omusajja omwesimbu mu buweereza bwe, era ng’akoze kinene okusitula ekisaawe kya katemba mu ggwanga lino.

Bino byogeddwa Ssabaminister wa Uganda Robina Nabbanja Musafiiri bw’abadde yegasse kubakungubazi ku National Theatre mu Kampala.

Omubiri gwa Kato Lubwama gutwaliddwa ku National Theatre, bannakatemba, abayimbi, bannabyabufuzi n’abantu abalala bonna gyebagenze okugukubako eriiso evvanyuma.

Abayimbi nga bakulembeddwamu Mariam Ndagire bayimbye ennyimba ezenjawulo ezimukungubagira,  n’okumwogerako eebintu ebyenjawulo byakoze.

Munnakatemba Joy Matovu atontomye ekitontome ekirambise ebintu byonna Kato Lubwama byakoze ng’akyali mulamu n’ebirala.

Ssabaminister agambye nti omugenzi abadde kyakulabirako, n’asaba abayimbi ne banakatemba abasigaddewo okumukoppa.

Kato Lubwama yali mubaka wa parliament owa Lubaga South okumala ekisanja kimu mu parliament ey’omwenda 2016 – 2021.

Yayambazibwa omudaali mu kukuza olunaku lw’abazira ku mukolo ogwayindira e Ziroobwe mu Bulemeezi ku kisaawe kya klezia ya St.Augustine.

Omulambo gwa Kato gwatuusiddwa ku National Theare ku saawa mukaaga ez’emisana, era gyegugenda okusuzibwa  ng’abantu bamukungubagira.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top