GAVUMENTI tennamaliriza okunoonyereza ku mutuuze w’e Banda avunaanibwa omusango gw’okukabasanya omwana ow’emyaka 10.
John Yiga 37, omutuuze w’e Banda zooni 3 mu munisipaali y’e Nakawa e Kampala yabbinkana n’omusango guno mu maaso g’omulamuzi Frank Namanya owa kkooti ento e Nakawa era olumukomezaawo mu kkooti eno oludda oluwaabi ne lutegeeza ng’okunoonyereza bwe batannaba kukumaliriza.
Bw’atyo omulamuzi Namanya n’addamu okumusindika ku limanda mu kkomera e Luzira okutuusa nga February,07,2023 oludda oluwaabi lusobole okumaliriza okunoonyereza kwe baliko.
Omulamuzi Namanya bwe yasomera Yiga omusango guno olunaku lwe yasooka okulabikako mu kkooti eno mu mwezi gwa September,2022 yamutegeeza nga bw’atayinza kubaako kyamukkiriza kubaako ky’ayogera ku musango guno n’amutegeezezza nti kkooti ye ya mutendera gwa wansi tesobola kumukkiriza kubaako ky’agwogwerako wadde okuguwulira nga gulina kuwulirwa kkooti enkulu kubanga gwa nnagomola.
Okusinziira ku ludda oluwaabi olwakulemberwa omuwaabi wa gavumenti, Eunice Mbaine kigambibwa nti nga August,27,2022 ng’asinziira mu mu zooni ye Banda e Nakawa yakabasanya omwana ow’emyaka 10.
Okuva Yiga lwe yasindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira kati waakayitaawo emyezi ena ng’oludda oluwaabi terunnamaliriza kunoonyereza kwalwo era bwatyo alina okuweza myezi mukaaga okukkirizibwa okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti singa oludda oluwaabi lulemwa okumaliriza okunoonyereza kwabwe.