Amawulire

Gavumenti erangiridde kkampuni 6 ezirina okwekebejja ebyamanguzi.

Mu nteekateeka ya gavumenti ey’okutaasa obulamu bwa Bannayuganda obutakozesa bintu bya bulabe okuva mu mawanga ag’ebweru, ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga ekya (UNBS) kiwadde kontulakiti eri kkampuni mukaaga okwekebejja  omutindo  gw’ebyamaguzi mu mawanga gye bisuubulwa   nga tebinatikkibwa ku mmeeri  oba ku nnyonyi okuleetebwa mu Uganda.

Kino kigendereddwaamu okwongera okukuuma omutindo mu mateeka ne mu nkola emanyidwa nga pre-export verification of conformity (PVOC).

Sylvia Kirabo, omwogezi w’ekitongole kya UNBS agamba nti kigendereddwaamu okula ng’ebyamaguzi ebitatuukana na mutindo n’ebyobulabe eri obulamu bw’abantu n’obutonde bwensi tebiyigizibwa mu ggwanga.

Yagambye nti kkampuni omukaaga ezaaweereddwa kontulakiti ey’emyaka esantu okuva nga 1 march,2023 okukola omulimu guno ziri ku mutindo gwa nsiyonna era buli musuubuzi ayingiza ebyamaguzi okuva wabweru w’eggwanga alina okugoberera  entekateeka  eno.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top