Amawulire

Gavumenti esabiddwa okwongera okutondawo emirimu.

Omumyuka Ow’okubiri owa Mufti wa Uganda ku Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Mohamad Ali Waisswa awadde gavumenti amagezi okufuba okulaba nga etondawo emilimu giyambeko bangi okweyimirizaawo okusobola okukendeeza ku bikorwa eby’obuli bwenguzi.

Waiswa era ayagala abantu bayigiriizbwe ennono z’empisa ennungi wadde nga eby’enfuna bikulu nnyo okuyimirizaawo obulamu bw’abantu.

Abadde yetabye mu musomo ogugenderedde okutunuulira ebilowoozo ebyavudde mu kunoonyereza ku nteekesa mu nkola ey’etteeka erilwanyisa obukenuzi okwetoloola eggwanga ng’omusomo guno gubadde ku Mestil mu Kampala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top