Amawulire

Gavumenti yaakutondawo emirimu 1000 ng’eyita ku mutimbagano.

William Bazeyo okuva mu Minisitule y’ebya Tekinologiya yasinzidde ku Yunivaasite e Makerere okulangirira enkolagana yaabwe n’ekitongole kino ekiyamba okulwanyisa eby’obufere bwa yintaneeti, n’ebirala okuva mu ggwanga lya America ng’abavubuka abalina obumanyi mu bya Tekinologiya baakuwandiisibwa okubeegattako beenogere ku nsimbi.

Bazeyo yagambye nti Bannayuganda tebasaanye kwekengera kitongole kino newankubadde kisinziira mu America kubanga ye yakikolerako ku ttabi lyakyo mu Philippine era n’akakasa nga bwe bakireese okumalawo ebbula ly’e mirimu.

Yasabye abavubuka okweyambisa ensimbi ezinaabaweebwa okuzikozesa mu kwe kulaakulanya so si kuzirya era n’awanjagira n’amatendekero ag’enjawulo okuzuula abaana abalina ebitone mu bya kompyuta obutasubwa mukisa guno.

Robert Nash omutandisi wa Help Ware annyonnyodde nti, ekitongole kino kimaze emyaka egisoba mu 5 era nga kiwadde abavubuka abasoba mu kakadde emirimu mu nsi ez’enjawulo okuli; Philippine, Germany, Mexico, Portugal n’endala nga kati essira balitadde ku Uganda okuyamba ku bavubuka.

Nash yagambye nti ekigendererwa kyabwe kya kutondawo mirimu, okuddiza ebitundu ssaako n’okuyamba abakola bizinensi ez’enjawulo okutunda emmaali yaabwe nga bakozesa omutimbagano.

Okufuna omulimu mu kitongole kino Nash agambye nti olina kugusaba ng’oyita ku mutimbagano era nga mu bbanga eggere bajja kuba batandika okukola nga basinziira wano nga ofiisi zaabwe zaakubeera Nakasero ku kizimbe kya UEDCL ne mu America.

Joe Kakumirizi akola n’ekitongole kino yagambye nti, okubeegattako oteekeddwa okuba n’obukugu mu bya Tekinologiya n’ayongerako nti baakutandika okusunsulamu nga February 22, 2023.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top