Amawulire

Gavumenti yaragidde abasomesa okudda mu bibiina oba balekulire.

Gavumenti yaragidde abasomesa bonna abaatadde ebikola wansi nebeediima okudda mu bibiina oba sikyo balekulirire emirimu gyabwe.

Kino kyaddiridde abasomesa nga bayita mu kibiina ekibagata ki ‘Uganda National Teachers Union (UNATU),’ okwekalakaasa nebagaana okusomesa nga bawakanya kyebayita obusosoze oluvannyuma lwa gavumenti okwongeza abasomesa amasomo ga Saayansi (Sciences) awatali kufaayo ku basomesa amasomo agatali ga Saayansi (Arts).

Wadde gavumenti yagezezaako nnyo okwogereza abasomesa okudda mu bibiina naye bano beeremye nga bagamba nti basusse obutafiibwako.

Mu bbaluwa Ssaabawandiisi wa UNATU, Minisita avunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti, Catherine Birakwate yagambye nti gavumenti neetegefu okwongeza emisaala gy’abasomesa bonna awatali kufaayo ku byebasomesa naye essaawa eno tebasobola kukikola ku bonna kuba ssente eziriwo tezimala.

“ Ekyokusooka okwongeza abasomesa basaayansi kyesigamizibwa ku ssente ezaaliwo, omuwendo gwabwe awamu n’engeri gyebasobola okuyambako okuleetawo enkulaakulana y’eggwanga. Ffenna tukaanya nti twetaaga okusomesa abantu baffe bonna naye enkizo tulina giwa Saayansi kuba basobola okutuwa obukugu obwetaagibwa mu kiseera kino,” Birakwate bweyategeezezza.

Ono yasabye abasomesa amasomo agatali ga Saayansi okulindako kuba ssente eziriwo mu kiseera kino zisobola kukola ku basomesa Saayansi. Birakwate yagambye nti wadde kiri mu mateeka okwekalakaasa naye akeediimo abasomesa bano kebalimu tekeesigamiziddwa ku tteeka lyonna.

Minisita Birakwate yategeezezza nti bafunye alipoota nga amasomero agamu bwegaggaddwa okusobozesa abasomesa okwetaba mu keediimo kano nalabula nti embeera eno tebajja kugikkiriza nga gavumenti.

Bino webijjidde nga Pulezidenti Yoweri Museveni yakamala okusisisnkana Minisita w’ebyenjigiriza, Minisita w’ebyensimbi, owabakozi, Ssaabaminisita wamu n’omumyuka we ku kirina okukolebwa ku nsonga eno.

Ensonda ezeesigika zigamba nti Pulezidenti alagidde abasomesa okudda mu bibiina nga gavumenti bwenoonya gyegenda okujja ssente okubongera omusaala naye yategeezezza nti akooye okukolagana n’abantu abatalina mwoyo gwa ggwanga.

Gavumenti yawaayo obuwumbi 735 okwongeza omusaala gw’abakola emirimu gya Saayansi omuli n’abasomesa era ensimbi zino zarinyisa abasomesa  mu masomero ga gavumenti okuva ku mitwalo 70 ne 90 nebatuuka ku bukadde 3.

Abalina ddiguli bava ku kakadde akamu n’emitwalo 40 nga kati buli omu agenda kuweebwa obukadde 4 ekintu ekyatabudde abasomesa amasomo amalala nga bagamba nti gavumenti eno ebasosola.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top