Gavumenti ng’eyita mu Minisitule y’obutondebwensi n’ amazzi yarangiridde enteekateeka y’okwerula empenda z’entobazi wonna mu ggwanga okusobola okukuuma obutonde n’okuzitaasa ku bantu abongedde okuzisengamu.
Bino byayogeddwa adduumira poliisi y’obutondebwensi mu ggwanga, Kamisona Okoshi Simon Peter bweyabadde alambula entobazi z’omugga Mayanja mu ggombolola ye Gombe mu Munisipaali ye Nansana mu disitulikiti ye Wakiso.
Kamisona Okoshiyategeezzeza nti abantu bayitiridde okwesenza mu ntobazi kyokka bwekituuka ku kubasengula beekwasa nti tebamanyi ntobazi za gavumenti weziyita nga kino kigenda kuyambako okwongera okulambika abantu ku nsonga eno.
Okusinziira ku Okoshi bino byonna bikolebwa okuteeka ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Museveni mu nkola ekiragira obutakkiriza muntu yenna kwesenza mu ntobazi zino okusobola okukuuma obutondebwensi obutaguddwa ennyo ensangi zino.
Mu kulambula kuno Kamisona Okoshi yabadde wamu n’akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka State House Anti- Corruption Unit.
Oluvannyuma batuuzizza olukiiko n’abatuuze abaliraanye entobazi zino, nebabalabula okwewala okwonoona entobazi, era wano aba NEMA bategeezezza nti tebagenda kuttira muntu yenna ku liiso singa banalemwa okugondera ekiragiro kya Pulezidenti.
Abakulu balambise abantu ku ngeri gyebasobola okukozesaamu entobazi zino nga balunda ebyennyanja awamu n’okukoleramu emirimu emirala egitazisaanyaawo nawa gyebalina okujja olukusa okuzikoleramu.