Genero Mega Dee y’omu ku bayimbi abafulumya ennyimba ezaakwata Bannayuganda omubabiro okugeza “Inna Di Dance” Nga tuyingira omwaka , omu ku batabani be amanyiddwa nga Ethan Amos yajaguzza okuweza emyaka 16 egy’obukulu .
Ono yamugulidde emmotoka ebalirirwamu obukadde bw’ensimbi n’okumwogerako ebirungi ku mukut gwe ogwa “facebook” Amos y’omu ku batabani ba Mega Dee abalina ebirooto by’okuzannya omuzanyo ogw’ensero mu ttiimu ez’amaanyi mu Amecica.
