Amawulire

Government ekkiriza abayizi abamalirizza ebigezo e Kassanda ne Mubende okudda ewaka.

Government kyadaaki ekkiriza abayizi abamalirizza ebigezo byabwe mu district ye Mubende ne Kassanda, okufuluma district zino okugenda gyebabeera, era nga n’abasomera wabweru wa district zino nabo bakkiriziddwa okuziyingira awatali ku kugirwa kwonna.

Gyebuvuddeko Ministry y’ebyenjigiriza yayisa ekiragiro eri baddukanya amassomero obutakkiriza muyizi yenna assomera mu district eziri ku muggalo okufuluma, kwosa n’abasomera wabweru wa district zino obutakkirizibwa kuyingira okwewala okusasaanya ekirwadde kya Ebola.

Ekiragiro kino kyawakanyizibwa bangi naddala abatandisi b’amasomero, nga bagamba nti bagenda kunyigirizibwa nnyo okubeezaawo abayizi bano naddala mu kaseera kano akokusomozebwa mu byenfuna.

RDC we Mubende Rose Byabashaijja, agambye nti bakanyiza ne ministry yebyenjigiriza era bataddewo e Motooka ezigenda okufulumya n’okuyingiza abayizi bonna abamaliriza ebigezo byabwe, nga kino kitandise leero ku Tuesday nga 15 okutuuka enkya ku lw’okusatu nga 16 November, 2022.

RDC Byabashaija era agambye nti ennaku zino ziyinza okulabika ng’entono, nti naye basobola okuzongezaayo singa wabaawo obwetaavu nga wakyaliyo abayizi abanaaba basigalidde.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top