Tekinologiya

Huawei yaakuteeka obukadde bwa Doola 150 mu kukulaakulanya talanta

Huawei yaakuteeka obukadde bwa Doola 150 mu kukulaakulanya talanta

Huawei yakuteeka obukadde bwa Doola kikumi mw’ataano nga etumbula abavubuka mu bukugu bwa tekinologiya mu myaka etaano egiddako. Mu nteekateeka eno abavubuka abalala obukadde 3 baakuganyulwa.

“Olwaleero tulangirira ensigo ya Huawei ey’enteekateeka yo mu maaso nga kino kitundu ku bisuubizo mu kutumbula ebitone by’abavubuka mu bukugu bwa tekinologiya era tugenda kukozesa ensimbi zino mu nteekateeka y’emyaka etaano ejiddako nga tuli bakuyamba abayizi mu matendekero gawaggulu n’abavubuka okubawa obukugu mu tekinologiya.” Liang Hua ssentebe wa Huawei bweyategeezezza SSEKANOLYA.

Mu mwaka gwa 2008, Huawei mweyatandikira okugaziyiza enteekateeka yaayo eyokutumbula ebitone by’abavubuka, nga egaba sikaala, okuvuganya mu bya tekinologiya n’okutendeka obukugu mu bya tekinologiya era nga ettaddemu obukadde bwa Doola obuwerera ddala 150 mu nteekateeka eno, era nga abantu abaganyuddwa basukka akakadde akamu n’ekitundu okuva mu nsi eziweerera ddala 150.

Munteekateeka eno ey’okusiga yagendererwamu ku kutumbula ebitone mu bavubuka mu nsi yonna, nga tubawa obukugu okuyita mu bakugu ba tekinologiya akyali omugya, kibayambe okutumbula obukugu n’okutaggulula endowooza, basobole okuvuganya ku mirimu mu biseera by’omumaaso.

Ate mu 2014 Huawei lwe yatandikawo enteekateeka eno era nga abayizi abaganyuddwamu kumpi baweerera ddala 2,000 mu mawanga agasoba mu 25 ku ssemazinga w’Afirika era nga gavumenti z’amawaga gano zisiimye omulimu Huawei n’enteekateeka yaayo ey’okutumbula ebitone bino, era nga ne Minisita wa w’empuliziganya ne tekinologiya mu South Africa Stella Ndabeni-Abrahams bwe yasiima era n’assaawo enkolagana wakati wa Kkampuni ya Huawei ne minisitule ye okuyambako mu kutumbula tekinologiya mu nsi eyo.

“Nga tuyita mu nteekateeka eno, abayizi bajja kufuna obukugu obusingayo mu tekinologiya akyali omupya (5G, cloud and AI era ) owa Huawei aja okubazibula amaaso bamanye nti nabo basobola okumukozesa okuvumbula n’okugonjoola eby’etaago bya buligyo nga kijja okubayamba okukyusa obulamu bwabwe.”   Stella bwe yagasseeko.

Ate ye Yang Chen, omumyuka wa pulezidenti wa Kkampuni ya Huawei mu ttundutundu lya South Africa, yagambye nti kkampuni eno eja kwongera ku bakozi mu Afirika.

“Afirika yeesinga abakozi abatono mu nsi yonna era bano beebagenda okutumbula eby’enfuna gyebujja. Huawei yegasse ne Gavumenti z’Afirika, amatendekero n’amakolero okuwa abakulembeze b’enkya obumanyi obusinga obuli ku mutindo gw’ensi yonna era n’okubawa omukisa okubukozesa okulongooseza ssemazinga w’Afirika ebiseera byomumaaso”, Yang Chen bweyategeezezza SSEKANOLYA.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top