Tekinologiya

Huawei yakutumbula ebyamasannyalaze mu Africa (From bits to watts)

Huawei yakutumbula ebyamasannyalaze mu Africa (From bits to watts)

Tewali kubuusabuusa nti Africa essanga obuzi mu byamasannyalaze newankubadde erina byobugagga bingi ebyomuttaka ebisobola okuvaamu amasannyalaze. Abantu obukadde 580 mu Africa tebaalina busobozi bukozesa amasannyalaze okusinziira kukunoonyereza okwakolebwa ‘International Energy Agency’ mu 2019

Waliwo obwetaavu okwongeza ku kufulumya amasannyalaze agava mu butonde okwetooloola ssemazinga wa Africa okukakasa nti gamala, gasasulikika era nga tegavaavaako era nga geyagaza omuntu ssekinoomu, ababizinensi nebitundu byonna. Huawei ekutte omumuli okutuukiriza kino nga bwekiraze olwaleero nga ekozesa enkola ya VDP (Virtual Digital Power).

“Wakyaliwo omwagaanya ogwetaaganya munene ogwetaaga okuziba, yadde nga enkola eyokufulumya amasannyalaze enkadde ebaddewo tesobola kuvuganya ku mulembe ogwa digito aba Digital and intelligent technologies bavuddeyo okubeera n’ekola esobozesa okubunyisa amasannyalaze wonna” Huang Su, ssenkulu wa Huawei Southern Africa Digital Power Business bweyategeezezza.

Munsi ezisinga obungi amasannyalaze ga PV gagudde ebbeyi era nga agava mu butonde kati geegaliko. Kino kiwa Africa omukisa omunene okuganyulwa mu katale kano akanene ennyo nga ate etaasa n’obutonde bwesi.

Nga Huang bwagamba nti amafuta gobutonde gagenda kubeera ga wansi nnyo okusinga amafuta amalala gonna era nga gajja kuyamba nnyo ensi yonna gyebujja.  Enkola yamafuta gano gakabuna ensi 60 era nga bakafulumya obungi bwa (300 billion Kwh) nga gayambye abantu abali mu bukadde wamu namakolero okwetooloola ensi yonna era agamba nti bajja kukozesa nnyo obuyiiya okusobola okulaba nti buli muntu aganyulwa.

Teri njju ekozesa ICT etamannya Huawei munsi yonna.  Huang agamba nti ICT yeetaaga amasannyalaze era nga Huawei emaze okukola ekisoboka okukakasa nti amasannyalaze agetaagisa abantu bagafuna.

Ebbanga lyonna Huawei ejja kuteekawo amabibiro g’amasannyalaze era nga gano galuŋŋamizibwa okuyita ku mitimbagano olwo kikendeeze ku butwa obubadde bufulumizibwa nga tuyita mu nkola yaffe eyenjawulo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top