Amawulire

IGG atonzeewo akakiiko akalondoola abantu ababeera bakwatiddwa mu bulyake.

Wofiisi ya kaliisoliiso wa government etongozza akakiiko akagenda okuyambako  okulondoola abantu ababeera bakwatiddwa mu bulyake nga batwalibwa mu mbuga zámateeka era emisango egyo giwulirwe mu budde, n’ebinonerezo ebibaweebwa bikolebwe.

Akakiiko kano katuumiddwa Inspector of Government Follow Up Unit, nga kaliko ba member 6.

Akakiiko kano kakulirwa Victor Acidi, Arizona Simon ye kalondoozi w’akakiiko kano, Zawedde Jemimah memba wakiiko, Juliana Nantale Batte, Gumisiriza Winfred ne Nakkazi Diana Mirembe nabo ba memba.

Katongozeddwa IGG  Betty Olive Namisango Kamya Turyomwe, agambye nti emisango mungi bibadde tejiwulirwa olw’obutabaako bajirondoola ekiviriddeko obukenuzi okusigala nga bwejiriisiza mu ggwanga.

Betty Namisango, agambye nti omwaka guno 2022, ekitongolekye kisobodde okutaasa obuwumbi bwa shs 30, ezikomezeddwawo mu government, némisango  emirala ejibalirirwamu obuwumbi nga 500 egijulidde ejigenda okulondoolebwa omwaka ogujja 2023.

Agambye nti abakungu ba government abasoba mu 50 bakwatiddwa mu misango gyobukenuzi, emisango 86 gyejitwaliddwa mu mbuga zámateeka,  government egiwangudde wabula abavunaanibwa tebanaba kuzizza.

Betty Olive Namisango musanyufu nti embalirira y’ekitongole nayo yalinnyisibwa n’ebitundu 40%, okwongera okukola emirimu, kyokka naawanjagira banna Uganda okwongera okukwasizaako wofiisi ye okulwanyisa obukenuzi.

Ebiwandiiko biraga nti trillion ezisoba mu 10 zezibulankanyizibwa mu bitongole bya government ebyenjawulo buli mwaka, ekiviiriddeko obuwereza okutambula akasoobo n’enteekateeka za government okuteekebwa mu nkola obulungi.

Betty Namisango Kamya Turyomwe era azeemu okuwanjagira banna Uganda okujjumbira enkola eyokuwawaba emisango, era nti nabo omwaka 2023 essira bagenda kugissa mu nkola eyokulondoola abantu nebyobugagga byabwe eyatuumibwa Life style Audit,okukendeeza abantu abezibika ensimbi zómuwi wómusolo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top